Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alagidde okuyimbula mbagirawo abatembeeyi bonna abaakwatibwa ekitongole kya KCCA gye buvuddeko ne baggalirwa, nga entabwe yava ku kulemererwa kusasula ensimbi akakadde kamu(1,000,000) nga engassi oluvanyuma lw’okukwatibwa nga batundira ebyamaguzi byabwe ku makubo, nagamba nti bonna bateebwe naye balabulwe obutaddamu kukikola.
Ono era alagidde nti teri muntu yenna akkirizibwa kukwata muntu yenna namuggulako omusango gwa kirerese, era nalagira abaakwatibwa bonna bateebwe okuva mu makomera gye bali amangu ddala.
Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa Ssabadduumizi wa Poliisi ye Ggwanga Martin Okoth Ochola era nga kyawereddwako abakungu ba Poliisi abenjawulo, kyalaze nti buli mukulu yenna gyali alina okuteeka ebilagiro by’omukulembeze we Ggwanga mu nkola awatali kwekwasa nsonga yonna.
Yagambye nti Pulezidenti alagidde bonna abaakwatibwa nga bali mu makomera eg’enjawulo bateebwe ne misango egibavunanibwa gibaggibweko amangu ddala.
Kino kiddiridde okwemulugunya okuva mu bantu ab’enjawulo nga bagamba nti ekitongole kya KCCA ne Poliisi babadde bayitirizza okukola ebikwekweto ne bayoola ba salumanya bonna ne babayiwa mu buduukulu obwenjawulo era nga okuvaayo bangi kubo babadde bamala kuggibwako nsimbi olumu ze baba batalina ne batwalibwa mu makomera ag’enjawulo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com