KKOOTI ettusizza okuwulira emisango gy’okukabasanya amabujje egivunanibwa omuzungu munnaNsi ya Beligium Benard Glaser amanyiddwanga Bery.
Bery ono nga yeyali addukanya amaka agalabirira abaana abatalina mwasirizi yakwatibwa gyebuvuddeko oluvanyuma lwa abaana be yali alabirira ku kyalo Mwena ekisangibwa ku kizinga kye Kalangala, okuvaayo ne bamulumiriza nti yali asusse okubakaka omukwano saako n’okubesittaza mu ngeri ye kikulu.
Ono yali addukanya ekifo ekimanyiddwa nga Ssese Humanitarian Services, era nga yakwatibwa poliisi eyamuggulako emisango.
Kati ono agenda kutandika okuwozesebwa mu kkooti enkulu e Masaka nga 14 omwezi gwe 10 omwaka guno emisango gye gitandike okuwulirizibwa.
Wabula ba Puliida be okuli Caleb Alaka, Evans Ochieng ne Leister Kaganzi baategezezza Kkooti nti omuntu waabwe mulwadde era nga yeetaaga ekiseera okusobola okuwona.
Omulamuzi Winfred Nabisinde yabasabye okuleeta ebiwandiiko ebilaga nti omuntu waabwe mukosefu balabe eky’okukola.
Glaser yagaana okukuba ekilayiro mu lulimi oluzungu kubanga yagamba nti talutegeera bulungi naagamba nti amanti Lubirigi lwokka, era omulamuzi yategezezza nti kuluno omutaputa waakuletebwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com