MUNNAMAWULIRE wa Vision Group Amon Mukasa asimattuse okuttibwa abakozi b’omuyindi Madhvani bw’abadde agenze okusaka amawulire ku kyalo Bugambo mu Gombolola ye Bbaale mu Disitulikiti ye Kayunga.
Mukasa yabadde ku ttaka erikaayanirwa aba aba famile y’omugenzi Eliyeza Kigendembuga bebakaayanira ettaka ne kampuni y’omuyindi Madhvan eya Kayunga Sugar works.
Kigambibwa nti Mukasa yatemezeddwako aba Famire ya Eliyeza nga aba kkampuni ya Madhvani bwe bawamba ettaka lyabwe era ne bagenda mu maaso ne basimbako ebikajjo kyokka nga baali batwala kkampuni eno mu mbuga z’amateeka era omusango nga tegunaggwa, nabo kwe kusalawo okutwala munnamawulire.
Mukasa yagambye nti olw’atuuse ku ttaka newajja omuyindi gwe basoose okwogera naye era ekyaddiridde bagenze okulaba nga akuba amasimu ag’okumukumu agateberezebwa okuba nti gegasombodde abakozi be olwo ne baggwa ekiyifuyiifu ku Mukasa ne banne ne babakuba nga kwotadde okubatema n’amajambiya.
yanyonyodde nti obwedda waliwo abagamba nti oyo mumuleke munnamawulirea kyokka nga balala bagenda mu maaso n’okumukuba emiggo egy’okumukumu era ekyaddiridde kwe kuggwa wansi ne wabaawo eyamutemye ejjambiya mu bulago n’avaamu omusaayi omungi.
Bagenze mu maaso ne bonoona kkamera ye saako n’okubba essimu ye ey’omungalo, saako n’okumwambulamu engoye kyagamba nti kyamuwebudde mu bantu.
Oluvanyuma yatwaliddwa mu kalwaliro ka Bbaale Health Centre III gye yafunidde obujjanjabi obusokerwako gye yaggiddwa n’atwalibwa e Naggalama gyapooceza kati ne bisago eby’amaanyi.
Abakulira ekitongole ekilwanirira eddembe lya bannamawulire mu Ggwanga ki Human Rights Network For Journalists Uganda HRNJU bategezezza nti bagenda kuggulawo omusango ku kkampuni ya Madhvani ogw’okugezaako okutta munnamawulire saako n’okwonoona ebintu bye ebikozesebwa mu kukola emirimu.
Aba famile okuli Julius Sentubiro ne Godfrey Ssentoogo nabo babatemye, babadde bazze okulaba ettaka lyabwe kubanga kooti yayimiriza okukolera ku ttaka kyokka omuyindi nagenda mu maaso n’okusimba ebikajjo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com