• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Africa News
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
    • Travel
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • People
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • Video
  • Donate
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Africa News
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
    • Travel
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • People
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • Video
  • Donate
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Ababaka b’abavubuka bavuddeyo okulwanirira Fresh Kid, baagala Gavumenti emusomese.

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
4 years ago
in Entertainment, Luganda, News
0 0
ShareTweetSendShare
ABABAKA abakikirira abavubuka mu Palimenti baweze nga bwe bagenda okulwanirira eddembe ly’omuyimbi omuto Patrick Ssenyonjo amanyiddwa ennyo nga “Fresh Kid” nga bagamba nti Ggavumenti emuleke agende mu maaso ne kitone kye.Bano nga bakulembeddwamu omubaka Anna Adeke saako ne munne Mwine Mpaka ku lwa banaabwe abalala bagamba nti Gavumenti mu kifo ky’okutulugunya abayimbi abato yandibadde abayambako buyambi okutumbula ebitone kyabwe, era ne bawa amagezi Minisita w’abaana Florence Nakiwala Kiyingi okulaba nga ayambako ku baana sso ssi kubafiiriza.

Babadde boogerako ne bannamawulire ku Palimenti enkya ya mande ne bategeeza nti Minisita alina okufaayo okulaba nga omwana Patrick Ssenyonjo asoma ate nga asomera mu massomero amalungi kubanga agenda kufuuka w’amugaso eri eggwanga naddala mu kiseera kino nga n’abaana abasoma tebalina mirimu.

Basabye abamuyambako mu kuyimba kwe obutasika nnyo muguwa n’amateeka, wabula balabe engeri gye bagenda okukulakulanya ekitone ky’omwana nga tebakontanye nnyo n’amateeka.

Kino kizzeewo oluvanyuma lwa Minisita w’abavubuka n’abaana Florence Nakiwala Kiyingi okulagira omuyimbi omuto Fresh Kid okussa wansi emizindaalo gy”okuyimba nga agamba nti emyaka gye tegikkirizibwa kukola by’akola.

Ssenyonjo ennaku zino asazzeeko ekisaawe ky’okuyimba olw’ennyimba z’ayimba ate nga abantu bamwagala nnyo, kyokka ye Minista Nakiwala agamba nti emyaka gyalina gikontana n’amateeka agafuga abaana mu Ggwanga.

Ensonga enkulu Minisita zaawa agamba nti amateeka g’eGgwanga tegakkiriza mwana muto kukola oba kumukozesa n’ekigendererwa eky’okufuna ensimbi, kubanga aba tasobola kuddukanya akawunti ya Banka ate era tasobola kubeera na nnamba esasulirwako musolo, nga mukyo aba omusolo taasasula.

Nakiwala era agamba nti okujjako etteeka lino nga lisumuluddwa talina kyayinza kukolera Ssenyonjo, okujjako asobola okw’ogera naye ku nsonga z’okusoma zokka.

 


Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Share236TweetSendShare

Related Posts

National

PICTORIAL: Uganda Police Force Showcases Professionalism and Skills in Combating terrorism, Violence 

27th March 2023 at 20:33
Police spokesperson Fred Enanga
National

We shall deal with you decisively! Police warn Ugandans planning to carry out demonstrations over food prices

27th March 2023 at 16:35
Hon. Nambooze (R) chairing the committee where UNRA Ed, Kagina (in black and white) appeared
National

MPs irked by delayed works on Kampala-Jinja Highway

27th March 2023 at 15:17
Next Post

Over 10,000 village homes to receive free quality solar systems in new campaign

Facebook Twitter

Contact Information

Watchdog Uganda is a portal for solution journalism, trending news plus cutting edge commentaries in the fields of politics, security, business, tourism, entertainment, technology, agriculture, climate change, environment, public health et al. We also give preference to Ugandan community news and topical discussions. The portal also publishes community news and topical discussions.

Plot 23, Yusuf Lule Road
PO Box 7661 Kampala, Uganda
Office Line: +256 777 286 815
Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

Follow Us on Twitter

Tweets by watchdogug

Follow Us on Facebook

© 2022 Watchdog Uganda

No Result
View All Result
  • News
  • Business
  • Op-Ed
  • Entertainment
  • Travel
  • Special Report
  • Video
  • Luganda

© 2022 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In