KKOOTI enkulu mu Kampala evuddeyo n’elagira Gavumenti esasule bunnambiro Ssabakunzi w’ekibiina kya FDC Ingrid Turinawe obukadde bwe nsimbi 170, nga egamba nti baatyoboola eddembe lye lwe bamunyiga amabeere Poliisi bwe yali emukwata.
Bino byaliwo mu mwaka gwa 2012 Poliisi bwe yali elemesa abakulembeze ba FDC okukuba olukungaana mu kibuga kye Nansana wansi w’omugendo gwa (4GC) For God and my Country.
Akatambi akakwatibwa kaalaga nga ab’aPoliisi bakikasikanya Turinawe era ne kalaga omu nga amunyiga amabeere, ekyavumaganyisa ennyo ekitongole kya Poliisi olw’ekikolwa ekyakolebwa ku Mukyala omuzadde.
Bwabadde awa ensala ye ku lw’okuna omulamuzi Oumo Oguli agambye nti Turinawe yatulugunyizibwa ebitagambika saako n’okuswazibwa bwe yali akwatibwa, nagamba nti asaana okusasulwa olw’obuvune obwamutuusibwako.
“Bakusasule obukadde 170 olw’okutyoboola eddembe lyo, kubanga tewalina n’amusango wali ogenda kwetaba mu lukungaana” Oguli bwe yagambye.
Mu kusooka Turinawe yali yasaba obukadde 300 nga agamba nti ku lunaku olwo ne mmotoka ye yayononeka, nga nayo yali ayagala Gavumenti egisasule.
Wabula kino omulamuzi akigaanye nagamba nti ensimbi obukadde 300 nnyingi nnyo nga 170 azilabye nga zimala okumuliyirira, kubanga n’emmotoka gyayogerako teyalaga bujulizi bumatiza nti yayononeka.
Turinawe okutuuka okunyigibwa amabeere yali agenda mu lukungaana lw’ekibiina kya FDC e Nansana abaselikale abaali baduumirwa eyali omuduumizi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Andrew Felix Kaweesi ne bamugwako ekiyiifuyiifu ne bamusikambula mu motooka ye mu kavuvungano akaaliwo ne bamukwata ku mabeere ekyatyoboola ekitiibwa kye nga omukyala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com