EKITONGOLE ky’ebigezo mu Ggwanga UNEB kikakasizza nga bwe kkimaze okugolola ebigezo bye kibiina eky’omukaaga, era nga kati kisigadde kubirangirira ku lunaku lw’okuna nga 28 omwezi guno, sso ssi nga engambo bwe zibadde ziyitangana nti bifula leero.
Nga basinziira ku mukutu gwabwe ku mutimbagano bakakasizza nti bajja kutegeeza Minisitule y’ebyenjigiriza ebikwata ku bigezo bino ku lunaku lw’okubiri nga 26, oluvanyuma babifulumye ku lw’okutaano.
Guno gwe gugenda okubeera omulundi ogw’okusatu nga Minisita we by’enjigiriza era nga ye mukyala w’omukulembeze we Ggwanga Janet Museveni nga alangirira ebigezo bino okuva lwe yalondebwa mu mwaka gwa 2016.
Ssabawandiisi we kitongole ky”ebigezo Dan Odong yagambye nti abazadde n’abayizi abatasobole kugenda ku massomero gaabwe kumanya bivudde mu bigezo, bajja kwettanira okukozesa amasimu gaabwe mu nkola ey’obubaka oba emikutu gya yintanenti.
Abayizi abawerera ddala 99,672 be baatuula ebigezo bya S.6 mu mwaka gwa 2018.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com