ABASUUBUZI be byennyanja ab’egattira mu kibiina kya The Fish Processors And Dealers Association abakolera mu Disitulikiti 3 okuli Mukono Buikwe ne Buvuma bavudde mu mbeera ne basalawo okuwandiikira omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu Rebecca Kadaga nga bamusaba abataase ku kiragiro ky’abakulira ebikwekweto ebilwanyisa envuba embi mu Ggwanga kye baayisa gye buvuddekko mwe baayita okuwera okutambuza eby’ennyanja ebikalirire.
Bano bagamba nti gye buvuddeko akulira ebikwekweto ebilwanyisa envuba embi Lt. Col. James Nuwagaba yasinziira kku mikutu gy’amawulire nawera okukalirira ebyennyanja saako n’okubitambuza nga agamba nti kati abakukusa ebyennyanja ebito bakozesa enkola y’okubkalirira, oluvanyuma ne bakweka ebito mu bikulu ne bitambulira omwo, kye yagamba nti kyabulabe era nalagira basajja be okuteeka ekiragiro kino mu nkola.
Wabula abasuubuzi mu kiwandiiko kye baatisse omubaka we Buvuma mu Palimenti Robert Migadde Nduggwa akituuse ew’omukubiriza w’olukiiko lwe Ggwanga olukulu baalaze obw’ennyamivu eri abakulira ebikwekweto mu Ggwanga be baayogeddeko nga abasusse okubaliisa akakanja nga bwe babasanga ne byennyanja yadde bikulu, naye kasita biba nga bikalirire byonna babitwala saako n’okubasiba.
Ssentebe waabwe Florence Nantongo yagambye nti kati omulimu gw’obusubuzi bwe byennyanja gutuuse we gubalemera nti kubanga babadde bagezezzako okulaba nga bakubiriza banaabwe bakomye okusuubula ebito nti naye abaselikale batuuse okubalemesa omulimu kubanga bwe babasanga ne byennyaja yadde bikulu babakwata ate ne babitwala, kyagamba nti kitadde eby’enfuna byabwe mu katyabaga kubanga boolekedde okuva mu mulimu mwe babaddde bajja eky’okulya nga kwotadde n’okulabirira amaka gaabwe.
“Twagala Sipiika atuyambe kubanga ffe tetugaanangako kuwa sente ez’abuli mwaka emitwalo 50,000/= eza layisinsi etukkiriza okusuubula ebyennyanja, era n’ezokubitambuza 7000/= buli lwe tuba tubitambuza nazo tuziwa, ate ne tufaayo okulaba nga tutambuza bikulu ebikkirizibwa, lwaki bannauganda bannaffe abaselikale batutulugunya?” Nantongo bwe yebuzizza.
Bategezezza nti okuva nga 1 omwezi guno bali ku bunkenke, era nga nabamu bizinensi bagivuddemu, ate abalala baasalawo kukukusa kye bagamba nti sikirungi kubanga kiteeka obulamu bwabwe mu katyabaga kubanga batambula mu kiro.
Omubaka Migadde yabategezezza nga bwagenda okutuusa ekiwandiiko kyabwe ewa Sipiika era nabajjukiza nti waliwo ne alipoota Sipiika gye yasaba Ababaka ekwata ku mbeera eri ku nnyanja nga ne birowoozo byabwe bagenda kubiteekamu balabe bwe babigonjoola.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com