Bya Moses Kizito Buule
SSENTEBE wa kabondo ka Babaka abava mu Buganda era nga ye Mubaka wa Mukono South mu palimenti Johnson Muyanja Ssenyonga asiimye abantu ab’enjawulo abavuddeyo ne bateekawo embeera y’okusomesa abaana eby’emikono kyagambye nti kyakuyamba
okukeddeza ebbula ly’emilimu mu ggwanga.
Muyanja agamba nti omuwendo gwa bavubuka gw’eyogera buli olukya
ate nga tebalina ky’ebayinza kukola okusobola okwebezaawo kye yagambye nti balina okuyambibwako okulaba nga bakeddera nga bafuna eby’okukola ate nga babimanyi mu mitwe gyabwe.
Bino yabyogeredde ku matikkira g’entendekero lye by’emikono elya St.
Johns Vocational training institute elisangibwa e Namuyenje mu Disitulikiti ye Mukono, bwe yabadde akwasa abaana abaweredde ddala 120 amabaluwa ge baafunye oluvanyuma lw’okuwangula emisomo mu masomo ag’enjawulo omuli okukola enviiri, okutungisa ebyalaani ne kkompyuta.
Mu ngeri yeemu yasabye abazadde obutasulirira baana baabwe yadde baba bakomye mu bibiina ebyawansi, kye yagambye nti olumu bambi baba balina emirimu gye mikono gye basobola okukola ne bafunamu ensimbi ezibabeezaawo, ate n’oluvanyuma n’ebafuuka abantu ab’omugaso eri eggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com