• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
Friday, February 3, 2023
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Africa News
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
    • Travel
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • People
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • Video
  • Donate
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Africa News
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
    • Travel
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • People
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • Video
  • Donate
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Ddala kituufu ab’essomero lya St. Lawrence bakaka abayizi omukwano? Babaka bagenzeeyo betegereze

Watchdog Uganda by Watchdog Uganda
20th November 2018 at 12:41
in Luganda, News
0 0
0
0
SHARES
0
VIEWS
ShareTweetSendShare

Bya Moses Kizito Buule

ABABAKA ba Palimenti ab’alondebwa okunonyereza ku bigambibwa nti emize gy’okukaka abayizi omukwano mu massomero gissusse, ku lw’okubiri boolekedde massomero ga St. Lawrence schools nga kw’otadde ne Yunivasite okusobola okwetegereza embeera eriyo, oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti eno omuze gw’okukaka abayizi omukwano be baana baliwo.

Kino kiddiridde Ababaka okufuna okw’emulugunya okuva mu bantu ab’enjawulo nga balaga nga abayizi mu massomero gano bwe babatuukirira nga babasaba okubayamba ku baddukanya amassomero gano omuli abasomesa n’abakozi abalala olw’okubatulugunya nga babapeeka omukwano olw’ebigendererwa eby’enjawulo, oluusi omuli okubasibako emisango egitaliimu, okubongeza obubonero ne bilala, nga bino gye biggwera okubasonyiwa baba baagala kusooka  kwegatta nabo.

Kinajjukirwa nti eyali omutandisi wa massomero ga St. Lawrence omugenzi kati Prof. Lawrence Mukiibi yafa nga alina abamu ku baali abayizi mu massomero ge b’eyazaalamu abaana.

Omubaka Godfrey Katushabe akiikirira essaza ly’eBukonjo agamba nti babaddeko mu Disitulikiti omuli ey’e Bundibugyo ne Ntoroko ne bakizuula nga abaana bangi bakabasanyiziddwa abasomesa, abakulu b’amassomero saako n’abakozi b’emirimu emilala mu massomero.

Yagambye nti ye ne babaka banne tebagenda kuttira Musomesa yenna ku riiso singa banamusanga nga y’enyigidde mu bikolwa by’okukabassanya abayizi, kubanga bakizudde nga kye kimu ku bivuddeko omuwendo gw’abaana bangi ab’obuwala abawanduka mu massomero okw’eyongera.

Yanyonyodde nti bagenda kutambula mu massomero gonna kubanga emize gino gifuuse mingi, ate nga abayizi abato bebasinga okukosebwa kubanga ebiseera byabwe eby’omumaaso biba bizingamiziddwa abandibadde babizimba.

Akakiiko kano katondebwawo oluvanyuma lwa Sipiika Rebecca Kadaga okufuna okwemulugunya buli kiseera nga kuva mu bazadde n’abayizi, nga bamuloopera engeri abakulu b’amassomero saako n’abasomesa gye batulugunyamu abayizi ne batuuka n’okubakaka omukwano ku buwaze.

 

 


Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Previous Post

Museveni to sportsmen: Stop womanising

Next Post

Trending In Uganda: Agent Banking

Next Post

Trending In Uganda: Agent Banking

Contact Information

Watchdog Uganda is a portal for solution journalism, trending news plus cutting edge commentaries in the fields of politics, security, business, tourism, entertainment, technology, agriculture, climate change, environment, public health et al. We also give preference to Ugandan community news and topical discussions. The portal also publishes community news and topical discussions.

Plot 23, Yusuf Lule Road
PO Box 7661 Kampala, Uganda
Office Line: +256 777 286 815
Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

Follow Us on Twitter

Tweets by watchdogug

Follow Us on Facebook

  • About
  • Advertise
  • Donate
  • Contact

© 2021 Watchdog Uganda

No Result
View All Result
  • News
  • Business
  • Op-Ed
  • Entertainment
  • Travel
  • Special Report
  • Video
  • Luganda

© 2021 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In