Eyavuganyako ku ntebbe y’obukulembeze bwe Ggwanga mu kalulu akawedde Joseph Kabuleta era nga ye Ssenkulu we kisinde kye by’obufuzi ki national economic empowerment dialogue (NEED) agamba nti kye kiseera pulezidenti M7 okujjawo amateeka n’obukwakkulizo bwe yali yateekawo okutangira ekimbe ki covid-19 okusasaana, era nga kino alina okukikola amangu ddala nga azze okwogerako eri e Ggwanga ku lunaku olw’omukaaga.
Kabuleta ekimutaanudde okuvaamu omwansi bwe bulumbaganyi bwa bbomu obw’akoleddwa ku Ggwanga ku lw’okubiri lwa ssabiiti eno obw’alumizza abangi nga nabalala bafiiriddewo
Yategezezza nti ab’ebyokwerinda baava dda ku mulamwa gw’okukuuma bannaUganda ne bintu byabwe ne badda mu kufuuza amabaala agakola n’ebintu nga ppikippiki mu budde bwa kafiyu kyagamba nti kiwadde abatujju ettaka ejjimu okukola obulumbaganyi nga bwe baagala
Nga ekimbe ki covid19 kigenda kiwanula amatanga mu Ggwanga Kabuleta naye akkiriza nti n’omuwendo gw’abantu obukadde 4 mu emitwalo 80 ogwali gw’asabwa omukulembeze okujja e Ggwanga ku muggalo gwawera dda nga n’olwensonga eyo talina kwongera kukuumira bannaUganda mukutya nga aleekawo kafiyu saako n’omuggalo ku bintu ebikyaliko kkufulu nga ekisaawe kye byenjigiriza ,ekyokuyimba nebirala nokutuusa omwaka ogujja
Mubulumbaganyi obw’akolebwa ku Uganda nga 12th ogw’omusanvu mu 2010 abantu baayiga okwerinda obulumbaganyi kikula kino nga ne kumulundi guno agamba nti kyekirina okukolebwa okwewala ebya sengavuddemu ngazeemu nga ow’embaliga awasa ow’envuuza.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com