• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Pookino Jude Muleke, Takoma kuwereza Kabaka kyokka, Muwagizi wa ttiimu ya Chelsea Kakongoliro

Brian Mugenyi by Brian Mugenyi
3 years ago
in National, News, Sports
2 0
Pookino Jude Muleke

Pookino Jude Muleke

ShareTweetSendShare

BYA BRIAN MUGENYI

Mu bufunze

Erinnya: Jude Muleke

Emyaka: 43

By’akola: Pookino, mulimi

Abazadde: Gabriel Ddungu ne Simplicia Natembo

Omukyala: Sylvia Namagembe

Gye yasomera: Naluzaali Primary School, Bukalasa Major Seminary ne Uganda Martyrs University Nkozi

Kkiraabu: Chelsea

Abazannyi abénkizo

Petr Cech

Didier Drogba

Robert Huth

Carlton Cole

Arjen Robben

Gren Johnson

 

Jude Muleke, ye Pookino omuggya eyadidde Vincent Mayiga mu bigere. Abasibuka e Buddu, eno woofiisi bagimanyi bulungi. Pookino, yáyambako Kabaka okulamula essaza lyé Buddu.

Bakungu batono nnyo abaweereza e Mengo nga bamanyi ebyémizannyo. Ndowooza lwakuba bangi Omutanda abawa obwami nga batuludde mu myaka. Okwawukanako na bano. Pookino Mulele musajja munnabyamizannyo yadde nga si waakwemulisa ngábavubuka bénnaku zino. Muwagizi wa Chelsea, ezannyira mu English Premier League. Wammanga, akulaga engeri gye yajja okugiwagiramu.

Drogba amuleeta ku Stamford Bridge

Mu sizoni ya 2005, Chelsea yali eyokya. Mu kiseera kino, Chelsea yali wansi w’omutendesi Jose Mourinho era Muleke we yatandikira okugiwagira. Ensonga eyamuwagiza kkiraabu eno, ye muzannyi Didier Drogba eyajojobyanga ttiimu ya Arsenal, ebiseera ebyo, eyali wansi w’omutendesi Arsene Wenger.

Drogba, 41, yali muteebi kayingo, bwe yayabulanga, nga kkipa ne bwe baba bamutenda, ateekwa okuteeba. Pookino ayongerako nti Drogba yali mukulembeze mulungi eri banne era baamuwanga ekitiibwa. Pookino agamba nti Mourinho buli lwe yassanga Drogba ku lukalala lwábazannyi abagenda okutandika akazannyo, ngámanyirawo nti endiba egenda kunyuma. Muleke agamba Drogba yamwagala nnyo era yawalirizibwa n’okutandika okwambala emijoozi gya Chelsea ng’emabega kuwandiikiddwako Drogba.

Kyokka yadde Drogba ye yasinga okumusika omutima, nómukwasi wa ggoolo Petr Cech yamumatira nga kwótadde nábazannyi abalala nga: Robert Huth ne, Carlton Cole, Arjen Robben ne Gren Johnson.

Pookino yandiba omutuufu, okutwaliza awamu, Drogba obulamu bwe bwonna, omupiira yasinga kuguzannyira kkiraabu ya Chelsea era ng’awamu, yabazannyira emipiira 254 n’abateebera ggoolo 104. Drogba yatandika okuzannya omupiira ku myaka 18 mu kkiraabu ya Le Mans eyakazibwako erinnya lya ‘The Blood & Golds’ mu liigi ya Bufalansa.  Muleke agamba nti bwe yejjukannya ennyo enzannya ya Drogba, námugeraageranya nábazannyi abali mu kkiraabu nga bavuya buvuya, ayongera okumusubwa.

Uefa Championa League wa 2012 yamukolera

Ekimu ku bintu Muleke by’atalyerabira ku muzannyi ono, ye ggoolo gye yateeba FC Barcelona mu Uefa Champions League wa 2012 eyakutula omutima gw’omutendesi Tito Vilanova. Pookino agamba nti ne gye buli kati, alabika taddanga ngulu.

Muleke agamba nti obutafaananako na bazannyi balala Abafirika, abatuuka e Bulaaya ne bakola amalala, ye Drogba yamanya ennaku ye era n’ajiganyulwamu. Annyonnyola nti alabyeko ku bazannyi abafunye omukisa okuzannyira ku kkiraabu ennene wabula ne batasobola kweyubula kimala nga Drogba.

Wano amatira Onyango

Ku butaka, Pookino talinaawo kkiraabu ya nkalakkalira kyokka agoberera nnyo omukwasi wa ggoolo Denis Onyango, Mamelodi Sundowns, eya South Africa akwatira ne Uganda Cranes. Agamba nti Onyango, 34, ategeera kye bayita ggoolo ng’ate musajja mukulembeze mulungi.

Gye buvudeko, ekitongole kya International Federation of Football History and Statistics, mu 2016, kyalonda Onyango ng’omukwasi wa ggoolo ow’e 10 mu nsi yonna. Ng’omuzannyi, Onyango naye oyinza okugamba nti buli kimu akikoze. Muleke agamba nti mu kiseera kino, Uganda erina abakwasi ba ggoolo bangi: Charles Lukwago, Salim Jamal, Robert Ondongkara, James Alitho ne Joel Mutakubwa kwossa n’abalala naye Onyango tannafuna amuvuganya.

Mu biseera Onyango we yazannyira kkiraabu ya SC Villa, Muleke agamba nti lwe yatandika okwagala ennyo Onyango. Eno yali sizoni ya 2004-2005 we bawangulira ne liigi n’obubonero 67. Ebiseera ebyo Villa-Joogo yali eyokya nga toyinza kunyumya ku SC Vipers oba KCCA eziriko mu kiseera kino.

Gye buvuddeko, Mark Anderson, eyaliko omukwasi wa ggoolo ya Mamelodi Sundowns, yatenderezza omutindo n’ekitone kya Onyango. Anderson yagamba nti Onyango muzannyi ayina ekitone eky’owaggulu ate nga mukkakkamu naddala ng’ali mu kisaawe.


Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

ShareTweetSendShare

Related Posts

News

President Museveni calls on Africa to defend family values and secure economic sovereignty 

9th May 2025 at 19:52
Conversations with

HAKIM KYESWA: Bobi Wine’s Tribal Hypocrisy, A Failed Attempt to Rewrite History

9th May 2025 at 09:15
Business

Africa AI Summit 2025 at Speke Resort Munyonyo Highlights AI’s Role in Continent’s Future

8th May 2025 at 21:56
Next Post
Abadde omumyuaka wa RDC e Buvuma Juma Kigongo nga akwasa Mubiru Patrick Wacity Offiisi mu butongole

Sigenda kukolera mu ntalo!!, Omumyuka wa Rdc omuggya e Buvuma alabudde bannabyabufuzi

  • Prostitution in Uganda- Courtesy Photo

    10 dangerous hotspots known for prostitutes in Kampala

    975 shares
    Share 390 Tweet 244
  • Sudhir’s son Rajiv Ruparelia perishes in fatal motor accident 

    48 shares
    Share 19 Tweet 12
  • President Museveni proposes neutral Tororo city as compromise in Japadhola-Iteso dispute 

    18 shares
    Share 7 Tweet 5
  • President Museveni applauds Dei Biopharma Founder Dr. Magoola over US patent for cancer treatment

    14 shares
    Share 6 Tweet 4
  • President Museveni calls for action against key bottlenecks undermining public service

    14 shares
    Share 6 Tweet 4
Facebook Twitter

Contact Information

Watchdog Uganda is a portal for solution journalism, trending news plus cutting edge commentaries in the fields of politics, security, business, tourism, entertainment, technology, agriculture, climate change, environment, public health et al. We also give preference to Ugandan community news and topical discussions. The portal also publishes community news and topical discussions.

Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

Latest News

President Museveni calls on Africa to defend family values and secure economic sovereignty 

9th May 2025 at 19:52

HAKIM KYESWA: Bobi Wine’s Tribal Hypocrisy, A Failed Attempt to Rewrite History

9th May 2025 at 09:15

Check out

  • Trending
  • Comments
  • Latest
Minister Muruli Mukasa

LIST: New salary structure for civil servants starting July 2020 out; scientists, lecturers get juicy pay rise

24th May 2020 at 10:45
Pregnant woman

Shock as 17-year old boy impregnates his two sisters during Covid-19 lockdown 

17th June 2020 at 08:17
Sudhir Ruparelia has dominated the Uganda rich list for more than a decade

Billionaire Sudhir’s wisdom on how to invest in real estate

0

How a boy’s destiny turned from cotton grower to communications guru

0

President Museveni calls on Africa to defend family values and secure economic sovereignty 

9th May 2025 at 19:52

HAKIM KYESWA: Bobi Wine’s Tribal Hypocrisy, A Failed Attempt to Rewrite History

9th May 2025 at 09:15

© 2025 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News

© 2025 Watchdog Uganda