OMUBAKA mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu Fred Kayondo asazeewo okwekwatira ku nsonga ya mazzi mu kitundu kyakiikirira ekya maserengeta ga Mukono.
Kayondo agamba nti abantu bangi bwe yali anoonya akalulu akamutuusa mu bukulembeze baamukaabiriranga ekizibu ky’amazzi amakyafu ge baali banywa saako n’okukozesa mu bulamu bwabwe obw’abulijjo, bwatyo nasalawo okubaako omutemwa ku nsimbi zaafuna gugende ku nsonga ya mazzi mu kitundu kino.
Mu kiseera kino abatuuze mu magombolola okuli Ntenjeru ne Mpatta batandise okufuna akaseko ku matama olw’okulaba nga kawefube w’omubaka okubajja mu nvuba y’okunywa amazzi ge bidiba tandise okugenda mu maaso.
Ebitundu bye Mukono South byetoloddwa ennyanja Nalubaale, nga eno abamu ku batuuze amazzi bannywa gava mu nnyanja agabeera amakyafu songa ne nzizi kwe babadde bakima amayonjo ezisinga zaayononeka ekitadde obulamu bwabwe mu katyabaga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com