EKIRWADDE kya Covid 19 kyongedde okutaama nga kati kisinga kwegirisiza mu bagagga abantu be bayita ab’esobola.
Nga kyakamala okutwala Gideon Badagawa abadde akulira ekitongole kya bannamakolero ab’ekozesa bokka, ate kyeyongedde okwesoma ne kitwala abadde akulira abasuubuzi mu Kampala Evaresto Kayondo.
Kayondo gye buvuddeko abadde yavaayo naasaba abasuubuzi mu Kampala beerekereze basooke bonna badde awaka olw’ekirwadde ekyali kyongedde okuwanika amatanga, kumbe naye kyali mwekiri nga kisilikidde mu mubiri.
Kitegerekese nti Kayondo afiiridde mu ddwaliro lya Life Line international Hospital elisangibwa e Zana ku lwe Entebbe nga eno amazeeyo ennaku 4.
Ekitongole kya KACITA kye kigenda okulangirira eby’okuziika bye.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com