Minisita wa Micro Finance Haruna Kyeyune Kasolo era nga ye Mubaka we Ssaza lye Kyotera mu Palimenti ensonga za kalulu akabinda binda asazeewo kuzikwasa ba Jjajja bazimuyambeko.
Kasolo ono yalabiddwako mu bitundu bye Kabira mu Kyotera nga aliko abasamize baali nabo nga bakuma ebyoto eby’ukumukumu, era nga bamusabira emisambwa ne ba jjajja bamukwatireko mu kiseera kino kyalimu.
Kigambibwa nti ono ebbanga lyonna amaanyi agamuwanguza ekifo kino agajja mu kifo kino, era nga abadde atera okuddayo ebiseera nga biyiseewo ne yeebaza.
Kasolo bwanalondebwa ekisanja kino kijja kuba kye ky’okusatu ate nga e myaka gino 5 agimazeeko nga Minisita ekimuwadde omwagaanya okubaako ebintu ebyenjawulo byakoledde abantu mu kitundu gyakiikirira.
Ono gabye nnyo ebyalaani, ensigo, ensimbi enkalu ne bilala mu bibiina bya Bakyala e Kyotera, era nga mu kitundu kino akyali muganzi yadde nga tereddwako nnyo amaanyi bannakibiina kya NUP abakulemberwa Richard Kirumira asinga okumutwalaganya kati.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com