• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

By’obadde tomanyi ku Minisita we by’emizannyo e Mengo Henry Ssekabembe, muwagizi wa Man-U atakyukakyuka

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
5 years ago
in Luganda, National, News, Sports
13 1
Minisita wa Ssabasajja owe mizannyo n'okwewumuzaamu Henry Ssekabembe Kiberu

Minisita wa Ssabasajja owe mizannyo n'okwewumuzaamu Henry Ssekabembe Kiberu

ShareTweetSendShare

 

BYA BRIAN MUGENYI

Erinnya: Henry Ssekabembe

Emyaka: 50

Byakola: Yakulira ekitongole kyebyemizannyo e Mengo atenga era musubuzi.

Gyeyasomera: Kitende, Ndejje ne Makerere Business Institute

Abazadde: Christopher Kiberu Kigongo ne Costa Miriam Nantongo Kiberu

Kkiraabu kwafiira: Manchester United ne Express

Ebyamwagaza Man U: David Beckham

Ebyamwagaza Express: George Ssemwogerere

Henry Ssekabembe musajja munabyamizannyo era omugundivu ennyo nadala
mu Buganda.

Simupiira, kuwuga oba okuzannya omweeso, Ssekabembe wonna
agwaawo. Bwotuuka e Mengo, muyaffeesi yebyemizannyo mwasangibwa ebifanannyi byakabaka Ronald Mutebi byebikwaniriza. Wano,
yakamalawo emyaaka wajindaba musanvu oluvannyuma lwokusikira Herbert
Ssemakula eyali atwaala ekitongole kyebyemizannyo mu 2014.

Ng’omuntuntu yenna eyakuzibwa era nabangulwa bulungi, Ssekabembe musajja mwaniriza.

Agamba nti ebyemizannyo byafuuka kitundu kubulamu bwe bukya Kabaka Mutebi amuwa obwaami. Mubyo,
mwagya eddembe eranga abifunyeemu nnyo nadala bwekituuka mukola
emikwano. Akoledde abavubuka era agezezaako okuzaawo obumu mu bavubuka ba Buganda.

Ssekabembe wano kubutaka awagira Express kyokka nga bwosalinkiriza
newemulula mpaka mubakyeerupe muwagizi nnyo wa Manchester United.

Anyumya nti ebyemizannyo teyatandikira kubyagalira Mengo nga banji bwebageresa nadala ngabamulaba mipiira gy’Amasaza.

Oluberyeberye obwagazi bwatandikira ku ttiimu ya Manchester United
eranga eno yegomba nga nnyo mwana mulenzi David ‘Joseph’ Beckham
mukaseera kano eyagunyuka.

Awaka, Ssekabembe teyafunanga nnyo mukisa kulabirawo mupiira. Kyokka,
olwenyonta gyeyalina enyingi ennyo bwekyatuuka nga mukulaba Beckham
nga azannya yawalirizibwa nga okuva awaka nagenda mubibanda okusobola
okulaba omuzanyi we.

Awo e Kitende, Ssekabembe weyakasibanga nebavubuka banne eranga
okumugamba nga nti waliwo akuyita wabweeru nadala nga omupiira
guzannyibwa Ssekabembe yajulanga okujamu omumiro.

Beckham buli weyatandika nga omupiira, olwo nga ye Ssekabembe omutima
gwe gweyongera kumubeera wamu nga eyeyokeza enkejje.

Agamba nti omutendesi Alex Ferguson eyegatta ku kkiraabu eno mu 1986
teyamukola bubi yadde. Ebanga lyonna elyemyaaka 26 lyeyabawereza nga
omutendesi wa Manchester United ebikopo babiwangula.

Bwekyatuuka nga mukuyungula abazannyi ekumi noomu abanatandiika,
kyabanga kizibu nnyo obutasangamu linya lya Beckham.

Mukisaawe, awaka awamu nemukwogerako eri abalala, Ssekabembe agamba
nti Beckham yabeera nga mukakamu nga akatiko. Kyokka, nga baserebu bwebabeera
emirundi ejimu Beckham yavanga mumbeera ekyamuviirako nobutasimatuka
ngato mukama we Ferguson gyeyamukuba.

Kinajjukibwa nti Beckham, 44,  nga mukaseera kano asangibwa  Beverly
Hills, wali mu America, omupiira yagutandikira mu Ridgersway Rover
kyokka nga Manchester United yagyegatako mubutongole mu 1992 nga
aweeza emyaaka 17.

Wansi womutendesi, Ferguson, Beckham yakyaaka nnyo era yali atunda
okukira akawala akanyirivu atenga kekapya koka kukyaalo. Omukulu ono,
yabeera nga musaale nnyo bwekyaatuuka nga mukusimula ekisobyo awamu
nemukunyweesa ppeneti.

Bweyatukira okuvaawo mu 2003 oluvannyuma lwokugwa mu ddiiru ensaava mu
kkiraabu ya Real Madrid, Beckham yali abazannyidde emipiira 265
kwoteeka nokubatebeera ggoolo 62.

Ssekabembe agamba nti Beckham bweyegata ku Madrid kyamuyisaamu bubi
wadde nga omuzannyi oba omutendesi okumala akaseera akawanvu ku ttiimu
oluusi tekibeera kirungi.
Kukino annyonyola nti ensonga lwaaki Manchester United ekyalemereddwa
okudayo kuntiko gyeyali nadala muwangula ebikopo, kyaava kubakulembeze
battiimu eno obutalengerera wala musika wa Ferguson.

Kyokka olwokuba nti omutendesi aliwo ensangi zino Ole Gunnar Solskjaer
akulidde mulanji za Manchester United, Ssekabembe mumativu nti
kkiraabu ye yakudamu okulinyisa omutindo.

Agamba nti musaayi muto Macus Rashford ensangi zino amwagala nnyo
kuttiimu eno. Buli lwakalabako nga kazannya kalina ebintu binji
byekamujukikiza nadala obumalirivu awamu nobuyiiya Beckham bweyalina
ebiro biri.

Rashford, 21, omupiira kumpi agutandikidde mu kkiraabu ya Manchester
United eranga yakabatebeera ggoolo 27. Omuvubuka ono, y’omu
kubamusaayi muto Solskjaer basibiddeko olukoba okulaba nga akomyaawo
Manchester United mukisaawe kyabawanguzi be bikopo mubulaaya.

Ssekabembe agamba nti ebintu omuvubuka ono byakola mukisaawe
bimwewunyisa eranga nebatabani be awaka bamumatira nnyo.

Bwooba omukomezaawo wano kubutaka, ensonga eyamwagaza Express ‘Mukwano
Gwabanji’ yali muzannyi George Ssemwogerere nti yamulabanga nnyo
nadala e Kitende nga bazannya oluusi nabatuuze kukasaawe kekyaalo.

Mubalala, Ssekabembe yanyumirwa nga nnyo enzannya ya George
Ssemwogerere ne Ronny Vubya bagamba nti nabo balina ekitone
ekyomuwendo.

Ssekabembe agamba nti yalinanga nentebe ye emanyikiddwa mukisaawe e
Wankulukuku eranga ye okusubwa omupiira nadala mbiseera ebyo kyabeera
nga kizibu mpozi nga mulwadde.

Agamba nti awo mu 1980 akapiira bakoota nga buliro ne Katikiro Peter
Mayiga bweyali akyalimuvubuka mbula kalevu

 


Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com
Share3Tweet2SendShare

Related Posts

Nakawa Deputy RCC Edrine Benesa
News

BENESA EDRINE: Peace, Progress, and Grassroots Power! The Key Factors Giving President Museveni the 2026 Edge

26th November 2025 at 20:37
News

President Museveni’s Empowerment Drive Sees 300 Motorcycles Handed Over to Kawempe Boda Boda SACCOs

26th November 2025 at 19:00
Hajji Kakande, Office of the President officials in a group photo with RDCs and DISOs in Bukedi and Sebei sub-regions
News

2026 ELECTIONS: Bukedi and Sebei RDCs urged to carry out civic education and safeguard peace 

26th November 2025 at 16:25
Next Post
EOC boss Sylvia Muwebwa Ntambi

Equal Opportunities Commission boss Sylvia Ntambi expected in Court tomorrow over corruption charges

  • Prostitution in Uganda- Courtesy Photo

    10 dangerous hotspots known for prostitutes in Kampala

    1347 shares
    Share 539 Tweet 337
  • Uganda’s Billionaires 2025: Once Again Sudhir Ruparelia Leads a Resilient Pack

    153 shares
    Share 61 Tweet 38
  • NAGRC’s Super Goat Breed Poised to Transform Uganda into a Major Exporter

    3232 shares
    Share 1293 Tweet 808
  • LIST: New salary structure for civil servants starting July 2020 out; scientists, lecturers get juicy pay rise

    2363 shares
    Share 945 Tweet 591
  • One Of The Most Popular Payment Methods In South Africa: Vouchers

    14 shares
    Share 6 Tweet 4
Facebook Twitter

Contact Information

Watchdog Uganda is a portal for solution journalism, trending news plus cutting edge commentaries in the fields of politics, security, business, tourism, entertainment, technology, agriculture, climate change, environment, public health et al. We also give preference to Ugandan community news and topical discussions. The portal also publishes community news and topical discussions.

Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

Latest News

President Museveni Calls for Value Addition, Investment and Stronger Trade Partnerships as Uganda Hosts International Buyers Week

26th November 2025 at 21:02
Nakawa Deputy RCC Edrine Benesa

BENESA EDRINE: Peace, Progress, and Grassroots Power! The Key Factors Giving President Museveni the 2026 Edge

26th November 2025 at 20:37

Check out

  • Trending
  • Comments
  • Latest

NAGRC’s Super Goat Breed Poised to Transform Uganda into a Major Exporter

17th September 2025 at 08:52
Minister Muruli Mukasa

LIST: New salary structure for civil servants starting July 2020 out; scientists, lecturers get juicy pay rise

24th May 2020 at 10:45
Sudhir Ruparelia is the undisputed king of Kampala

Billionaire Sudhir’s wisdom on how to invest in real estate

0

How a boy’s destiny turned from cotton grower to communications guru

0

President Museveni Calls for Value Addition, Investment and Stronger Trade Partnerships as Uganda Hosts International Buyers Week

26th November 2025 at 21:02
Nakawa Deputy RCC Edrine Benesa

BENESA EDRINE: Peace, Progress, and Grassroots Power! The Key Factors Giving President Museveni the 2026 Edge

26th November 2025 at 20:37

© 2025 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News

© 2025 Watchdog Uganda