• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Bannabyabufuzi e Nakasongola Beemulugunnyizza Ku Scientific Elections

watchdog by watchdog
5 years ago
in Luganda, News
5 0
Kyeyune Ivan mu lukuƞƞaana ng'atuusa okwemulugunyakwe eri Electoral Commissiion.

Kyeyune Ivan mu lukuƞƞaana ng'atuusa okwemulugunyakwe eri Electoral Commissiion.

ShareTweetSendShare

Bya : Jackson Sewanyana

ABEESIMBYEWO ku bifo ebitali bimu e Nakosongola nga beegattiddwako abamu ku bawagizi baabwe, beemulugunyizza eri ekitongole ekivunnannyibwa ku kutegeka eby’okulonda mu Yuganda, ki electoral Commission. Bano baasinzidde mu lukuƞƞana olw’abantu aboolubatu, olwakubiddwa Kyeyune Ivan ku lunaku olwokuna wali mu maka g’omugenzi jjajja we Ssekamwa Sylvester e kakooge. Kyeyune, y’omu ku baatiikirivu abali mu lwokaano lw’okuvugnya ku kifo ky’omubaka wa Ppaalamenti owa Nakasongola Constituency 2021-2026.

Okutwalira awamu, bano obutali bumativu bwabwe baabutadde ku nkola ey’okuwenjeza akalulu ku TV, Leediyo, n’emikutu emigatta bantu egy’oku Yintaneeti nga What’sApp, Facebook, Instagram, Twitter, n’emirala.

Kyeyune yategeezezza nti enkola eyo si ya bwenkanya, nti era bw’ebeera nga y’egenda okukozesebwa, eruubiriddwaamu kulemesa bannakasongola kwetaba mu kalulu akabindabinda.

Yanyonnyodde nti okuva enkola eno lwe yalangirirwa ekitongole ky’eby’okulonda mu butongole, bo ng’abakulembeze abalumirirwa Nakasongola baakola okunoonyereza ne bakizuula nga akalulu k’okunoonyeza ku mikutu gy’empuliriziganya tekasobokerako ddala mu bitundu byo mu Disitrict yaabwe byonna. Nti kino baakituuka oluvannyuma lw’okusanga nga abatuuze abasinga mu byalo byabwe tebalina TV, Leediyo, Ssola, saako n’amasimu agagenda ku mutimbagano. Ateera nti n’abatonotono abalina ebimu ku bino, tebalina nsibi zisasula masannyalaze ssaako n’okugula Amanda g’okussa mu Leediyo.

Era olw’ebbula ly’eby’okukozesa mu kalulu ak’enkola eyo okwazuulibwa mu batuuze baabwe, Keyune we yaweredde nti oba kulwanagana na ppoliisi, bo bajja kwenyoola nayo, neye nga tebagenda kukkiriza kukuyega balonzi baawe nga tebabatuukiridde maaso ku maaso nga obululu bwe bubeera bulijjo.

Mu buufu bwe bumu, Ssempijja Nathan, ng’ono yeesimbyewo ku bwa Mayor bwa Kakooge Town Council, ne Babangida Simon ali mukuvuganya ku kya District Youth Counsellor Kakooge Town council, bo okwennyamira kwabe kwabadde ku bbula lya mikutu gya mpuliziganya eriri mu district yaabwe.

Ssempijja yalambise ezimu ku nsonga ze nti, e Nakasongola leediyio balinayo kamu kokka, ka UBC Buruuli FM, antenga bakakwasa mu bitundu bitono ddala, mu bisinga obungi ssiginal zaako tezituukayo.

Yayongeddeko nti bwe gutuuka ku TV, tebalinaayo wadde n’akamu bwe kati. Ssempijja yakkaatirizza nti okunonyeza akalulu ku mikutu gy’empuliziganya, bo bakyakisimbidde ekkuuli, kubanga, n’abawagizi baabwe ab’olubatu abalina amasimu agagenda ku mikutu emigattabantu egy’oku Yintaneti, bakaluubirizibwa okusasula ebisale ebyetaagisa ng’omusola gwa OTT. Ate nti nabo ng’abeesimbyewo tebasobola kumanya ddi oli lw’ageze ku mutimbagano, balyoke bamusangirizeeyo bamusaba obuwagizi.

Olw’ensonga nga ezo ezeetooloolera ku kwe kwemulugunya kwa Ssempijja, ye Babangida we yasabidde Govumenti ebakkirize banoonyeze akalulu mu lujjudde lw’abantu nga bakubye enkuƞƞaana ennene nga bwe gubaddenga mu biseera by’obululu ebizzenga bibeerawo. Nti mu buli lukuƞƞaana bajja kukolanga kyonnna ekisoboka okussa mu nkola amateega agassibwawo Ekitongole ky’eby’obulamu ng’okunaaba mu ngalo, okwewa amabanga, okwambala Obukookolo bw’okumimwa n’ebirala.

Mu kkowe lye limu elyo, omu ku batuuze b’e Kakooge, eyeetabye mu lukuƞƞaana luno, Nabukenya Kevin, yakubidde Govumenti omulanga nti eveeyo eddemu enyonnyole bannayuganda okulonda okwekinnassaayansi (Scientific Elections) kye ki?

Nabukenya yategeezezza nti okutandikira ku ye ng’omuntu, tategeera okulonda okw’engeri eno Kukola kutya, era kukozesebwa ku mutendera ki ogw’akalulu? Nti ebiseera ebisinga yeebuuza nti bwe kibanga kitegeeza ku kubira kampeyini ku mikutu gy’empuliziganya, ate bwe gunaatuuka mu kulonda, era abantu banaalondara ku mikutu gino? Oba kw’ogwo omutendera kwo banaakuƞƞaana, era bwe banaakikola ngeri ki ezo ez’enkizo ezinaakozesebwa okutangiri Ssennyiga omukabwe obutasaasana mu banaabeera balonda.

“Govumenti bw’enaayongera okuutangaaza abantu ku kulonda okw’ekinnassaayansi (Scientific Elections) kye zitegeeza, n’engeri gye beetegeseemu okuzitambuzamu mu Yuganda, kijja kuyamba okumatiza abantu basobole okugenda nga bazikkiririzaamu mpolampola nga bwe guli ku Mbaga ez’ekinnassaayansi (Scientific Weddings)”. Nabukenya bw’atyo bwe yawabudde govumenti.

Kinnajjukirwa nti Kyeyune guno olulundi yeesmibyewo gwa kubiri, ku kifo kino eranga ajanga independent. Wabula omu kubamuvuganya abaatiikirivu, ye Tibirondwa Stephen Bugingo, nga ye azze mulundi gwe gusooka, atenga agidde ku kaadi ya National Resistance Movement (NRM). Naye ye teyabaddewo mu lukuƞƞana luno bannabyabufuzi banne mwe beemulugunyiririzza.


Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com
Share1Tweet1SendShare

Related Posts

Community News

Ann Ssebunya: Uganda’s Radio Personality and Mental Health Advocate Transforming Lives Through the Drugs Hapana Initiative

6th July 2025 at 23:58
News

President Museveni underscores need to develop Martyrs’ birth places into pilgrimage and religious tourism sites 

6th July 2025 at 19:55
Business

See #Paradise Island Resort: Sudhir’s Luxurious Eco-Retreat Island on Lake Victoria

6th July 2025 at 15:29
Next Post
Michael Aboneka

Michael Aboneka: How shall we safeguard personal data while enforcing COVID-19 Measures?

  • Prostitution in Uganda- Courtesy Photo

    10 dangerous hotspots known for prostitutes in Kampala

    1115 shares
    Share 446 Tweet 279
  • Silent Billionaire Bosco Muwonge Buys Mukwano Arcade at UGX 250 Billion Cash Down

    41 shares
    Share 16 Tweet 10
  • LIST: New salary structure for civil servants starting July 2020 out; scientists, lecturers get juicy pay rise

    2286 shares
    Share 914 Tweet 572
  • Uganda’s Billionaires 2025: Once Again Sudhir Ruparelia Leads a Resilient Pack

    45 shares
    Share 18 Tweet 11
  • LIST : Gov’t releases Revised Salary Structure for Teachers, Police, and Prisons Staff for FY 2024/2025

    121 shares
    Share 48 Tweet 30
Facebook Twitter

Contact Information

Watchdog Uganda is a portal for solution journalism, trending news plus cutting edge commentaries in the fields of politics, security, business, tourism, entertainment, technology, agriculture, climate change, environment, public health et al. We also give preference to Ugandan community news and topical discussions. The portal also publishes community news and topical discussions.

Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

Latest News

Ann Ssebunya: Uganda’s Radio Personality and Mental Health Advocate Transforming Lives Through the Drugs Hapana Initiative

6th July 2025 at 23:58

President Museveni underscores need to develop Martyrs’ birth places into pilgrimage and religious tourism sites 

6th July 2025 at 19:55

Check out

  • Trending
  • Comments
  • Latest
Minister Muruli Mukasa

LIST: New salary structure for civil servants starting July 2020 out; scientists, lecturers get juicy pay rise

24th May 2020 at 10:45
Pregnant woman

Shock as 17-year old boy impregnates his two sisters during Covid-19 lockdown 

17th June 2020 at 08:17
Sudhir Ruparelia is set to speak at business forum in United Kingdom

Billionaire Sudhir’s wisdom on how to invest in real estate

0

How a boy’s destiny turned from cotton grower to communications guru

0

Ann Ssebunya: Uganda’s Radio Personality and Mental Health Advocate Transforming Lives Through the Drugs Hapana Initiative

6th July 2025 at 23:58

President Museveni underscores need to develop Martyrs’ birth places into pilgrimage and religious tourism sites 

6th July 2025 at 19:55

© 2025 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News

© 2025 Watchdog Uganda