• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

ARSBUG KATO: Nayingidde NRM nfunye ne byuma, kati okwerumba ku mikutu kutandike bulungi

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
8 months ago
in Luganda, National, News, Politics
17 1
ARSBUG KATO: Nayingidde NRM nfunye ne byuma, kati okwerumba ku mikutu kutandike bulungi

Balam Balugahare wakati nga akawasa Asburg Kato saako ne munne Ray Super Star compyuta Laptop ezigenda okukozesebwa okulumba abavuganyaMuseveni

Share on FacebookShare on Twitter

ABADDE omuwagizi we kisinde kya People Power Kayingi Ashraf Kato, amanyiddwanga Ashburg Kato alayidde okuttunka n’awagizi b’oludda oluvuganya Gavumenti abamulumba olw’okwegatta ku kibiina kya Nrm, Nagamba nti kati ayagala battunke ku mikutu kubana kyasinga okutegeera obulungi.

Kato agamba nti abantu ba b’oludda oluvuganya saako ne beyaleka mu kisinde kya People  power basusizza nnyo omumumanyiira saako n’okumwogerera ebissongovu kyagamba nti abakikola bakikola mu bukyamu kubanga ye muntu mukulu amanyi okwelowoleza saako n’okwesalirawo butya bwagenda okutambuza obulamu bwe.

Kato okuwanda omuliro yabadde akwasibwa kompyuta Laptop ekika kya Levono saako ne munne Ray Superstar nga ekimu ku byuma bye bagenda okukozesa okukola emirimu gyabwe ebyamuwereddwa omutegesi we bivvulu Balam Balugahare.

Hill Water

Kompyuta zino kigambibwa nti zigenda kukozesebwa okutegeeza abantu ebikoleddwa Gavumenti ya NRM nga babyogerera ku mikutu emigatta bantu.

“Omulimu gwe nsinga okutegeera kwe kulumba saako n’okwogera ebiluma abantu ku mikutu emigatta bantu, kati zigenda kudda okunywa nga nnumba abo abeeyita abaagala enkyukakyuka mu Ggwanga lino songa banooya byabwe nga abantu, saako n’okwegaggawaza ne Famire zaabwe.

Sigenda kugumikiriza muntu yenna alumba omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni, Mutabani we Genero Muhoozi Kainerugaba saako ne kibiina kya NRM, abo bonna abasuubira okukola ekyo sijja kubaguumikiriza kubanga beebamu ku bazizza ensi yaffe emabega, mu kiseera kino twetaaga bintu bitutwala mu maaso sso ssi kuvumirira bikoleddwa” Kato bwe yagambye.

Kato yamala ekiseera kinene nga ayogerera Gavumenti eri mu buyinza eya NRM ne Pulezidenti Museveni ebisongovu, era nga agamba nti ayagala wabeewo enkyukakyuaka mu bukulembeze, wabula mu kiseera kino yakyuka nadda mu NRM era nayanirizibwa omukulembeze we Ggwanga Museveni n’amuwa ne Nte 5 zimuyambe okutandika okwekulakulanya.

Ono gye buvuddeko yagamba nti teri amusinga kwagala kisinde kya People Power kubanga yoomu ku bakibangawo era nga alina n’akabonero TATOO ku mukono gwe akalaga obwetoowaze bwlina eri People Power.

ono era azze agaba emmere saako ne nsimbi enkalu okuva ewa mutabani w’omukulembeze we Ggwanga eri banne bwe bakola omulimu gw’okwogerera ku mikutu, era nga kati bangi abaali boogerera Gavumenti ya NRM ebikikinike bagyegattako dda nga Kato ssi yasoose.



Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Share4Tweet2Send
Previous Post

Another woman spills dirty tricks Faridah Nakazibwe’s man Omar Ssali uses to detooth rich ladies

Next Post

The role of women in promoting peaceful families

Next Post
The role of women in promoting peaceful families

The role of women in promoting peaceful families

Subscribe to Our Newsletter

Our news in your inbox. Subscribe to receive Watchdog Uganda news in your email at no cost.

Check your inbox or spam folder to confirm your subscription.

Facebook Twitter

Contact Information

Plot 23, Yusuf Lule Road
PO Box 7661 Kampala, Uganda
Office Line: +256 777 286 815
Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

© 2020 Watchdog Uganda

No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda

© 2020 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Create New Account!

Fill the forms below to register

All fields are required. Log In

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In