OMUSUMBA we Kkanisa ya House of Prayer Ministries International Aloysias Bugingo naye avuddeyo nadduukirira abantu abali mu bwetaavu oluvanyuama lwe kirwadde kya Corona okuzinda ensi gye buvuddeko, nga ono awaddeyo obukadde 100 eri offiisi ya Ssabaminisita.
Obuyambi buno Bugingo abuwaddeyo nga ayita mu kitongole kya House of Prayer Ministries abukwasizza akakiiko akatekebwawo okusolooza ebintu bino ku lw’okuna.
Bwabadde awaayo kyeeke eri abakulu Bugingo agambye nti omuntu yenna atalina kukkiriza aba mufu, kyagambye nti eno ngombo yabwe mu kitongole kya House of Prayer Ministries.
Anyonyodde nti mu kiseera kino ekkanisa ye eri wamu ne bannaUganda mu kusaba nasuubiza okwongera okuwaayo okusobola okuyamba abatalina mwasirizi mu kiseera kino.
Bugingo ategezezza nti obuyambi buno okubuwaayo ke kamu ku bubonero obulaga nti ye ne kkanisa ye balumirirwa abakoseddwa ekirwadde kino.
Offiisi ya Ssabaminisita era efunye obukadde 100 ne mmotoka ya ambulensi okuva mu kitongole kya Harris international okuyambako okuziyiza okusasaana kwe kirwadde kya COVID 19.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com