ABANTU 16 bakakasiddwa okuba nga bafiiridde mu mataba agasazeeko ebitundu bye Bundibugyo ate abamu ku batuuze bakyabuze mu kiseera kino.
Amataba gano gaatandise lunaku lwa mukaaga era gaakosezza abantu abenjawulo omuli n’okusanyawo obulamu bwabwe, nga kwotadde okwera amayumba gonna mu kitundu kino.
Ireen Nakasiita omwogezi we kitongole kya Red Cross ategezezza nti mu kusooka abantu 15 be baabadde bazuuliddwa nga bafudde nti kyokka olwaleero ku makya bazuddeyo omulambo omulala mu kitundu kya Town Council ye Bundibugyo.
Agambye nti mu kiseera kino basindiseeyo abantu baabwe okusobola okwekkanya embeera eliyo, saako n’okulaba wa we batandira okuyambako abakoseddwa amataba gano.
Anyonyodde nti ttiimu endala eri mu kitundu egezaako okunoonya abagambibwa okuba nga baafiridde mu mataba gano, olw’okuba abantu bangi tebalaba bantu baabwe bagenda mu maaso nokunoonya.
Mu kitundu kye Huragaleamayumba mangi galabiddwako nga gonna gaatwaliddwa omuyaga n’amazzi,era nga kati abantu abasing abaawonye ekibambulira bakuumirwa ku masomero n’amakanisa agali mu kitundu ekyo.
Amaggye ne Poliisi mu kitundu kino nabo tebalutumidde mwana, nabob agenda mu maaso okulwanagana namazzi okusobola okutaasa abantu naddala abaana abato.
.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com