OLUVANYUMA lw’okuwera omwaka mulamba okuwera bukya lyaato lya badigize elimanyiddwa nga MV Templar lyebbika mu nnyanja, bakawonawo olunaku lwa Ssande bazzeyo mu kifo ekimanyiddwanga Mutima Beach okusobola okujjukira emyoyo gya bantu be baali nabo abatokomoka saako n’okubasabirako.
Missa yabadde ku kyalo Buzindeere awasangibwa Mutima Beach, mu gombolola ye Mpatta e Mukono.
Bakawonawo nga bakulembeddwamu Omulangira David Kintu Wassajja eyawerekeddwako omuzaana Marion Nankya, beegattiddwako banaabwe abalala ne Basabira wamu mu kusaba okwakulembeddwamu akulira ekigo kye Kisoga Rev. Father Pius Ddunga.
Bano era beegattiddwako abatuuze abalinaanye Beach ya Mutima awagwa akabenje, abantu 31 we bafiira.
Bakawonawo era baagenze mu maaso ne batonera abatuuze be Buzindeere ebintu ebyeyambisibwa mu bulamu obwabulijjo, nga akamu ku bubonero bwokubasiima omulimu gwe baakola mu kubayamba okubanyulula mu mazzi.
Beeyamye okuzimba Ekelezia mu kitundu kino saako ne ssomero, era ne bagamba nti omulimu guno baagutandikako dda saako n’okuyambako ku baana abasoma mu kitundu kye Mpatta.
Omulangira Anold Ssimbwa omu ku bakawonawo yagambye nti okuva bwe yafuna akabenje kookumazzi yatandika okwegendereza mu bintu ebisinga obungi naddala okudigida, nasaba abatambulira ku mazzi okwewala okugatambulirako nga tebalina biokooti bubayambako mu kuwuga singa baba baguddemu.
Bano era basambazze ebigambibwa nti tebafuddeyo kuyambako ku batuuze ababayamba okubanyulula mu mazzi, ne bagamba nti okuva akabenje bwe kagwawo babadde batambulira wamu era nga babayamba mu ngeri ezitali zimu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com