BANNAMATEEKA ba basibe 3 abaddamu ne bakwatibwa ku misango gy’okutta eyali omwogezi wa Poliisi Andrew Felix Kaweesi basobeddwa eka ne mu kibira oluvanyuma lw’okubulwa gye baasibira abantu babwe.
Puliida Anthony Wameli yali yasaba kkooti enkulu okukaka ebitongole bye by’okwerinda okuleeta abantu bawolereza oluvanyuma lw’okubabuzaawo kati ennaku 13, yadde nga yagezaako okulondoola saako n’okunoonyako agamba nti byonna byagwa butaka.
Wabula ekibewunyisizza olwaleero kkooti lwe yali yabawa okuddayo mu maaso g’omulamuzi Henrietta Wolayo, ye muwaabi wa Gavumenti Brian Musota okubagamba nti babadde tebanafuna budde kunoonya mu Fayiro ze baatekayo mu kusaba kwabwe nga kibadde kibetagisa obudde baddemu okubitunulamu.
Agambye nti baali mu mpaaba yaabwe baatekamu Ssabawolereza wa Gavumenti, Omuddumizi wa Poliisi, saako n’akulira okunonyereza ku misango ku kitebe e Kireka, nga baagala bano baleete Yusuf Mugerwa, Jibril Kalyango ne Yusufu Nnyanzi oba balamu oba bafu.
Oluvanyuma omulamuzi ayongezaayo okuwulira omusango guno okutuusa nga 27 ogw’omwenda.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com