ABAVUBUGA Abaganda mu kitundu kya Buganda beelemye okuvaayo okujjumbira okwegatta ku kibinja kya maggye ekya LDU mu kuwandiika okugenda mu maaso okwetoloola eggwanga.
Kino kisinze kweyolekera mu bitundu okuli Kampala, Mukono ne Wakiso ekikola Kampala Metropolitan.
Okusinziira ku akuliddemu okuwandiika mu mu kitundu kino Col. Felix Obucha agamba nti okusunsula bakukoze naye bwatunuulidde ennyo abantu abasinze okujjumbira okwewandiisa ssi Baganda, nti era ababadde beewandiisa ba mawanga balala yadde nga babadde bakikolera mu Buganda.
Abucha ategezezza nti yewunyizza nnyo okulaba nga abavubuka Abaganda tebagadde kwegatta ku LDU nagamba nti kino kibawaddemu obuzibu kubanga abantu bano olumala okutendekebwa bagenda kukomezebwawo ku bitundu byabwe nga kitegeeza nti bwe bawandiika abatamanyi luganda bwe banakomawo bajja kuba tebamanyi kuwuliziganya na batuuze olw’olulimi.
Okusinga babadde Bateeso, Abalugwara, Abagisu n’amawanga amalala ag’ewandisirizza mu kitundu kya Buganda.
Abasunsuddwa baabadde 480 nga kuliko abawala 25 bokka.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com