AMAGGYE ga UPDF gakutte abantu 2 nga bano babadde beefunyiridde okujja ku bantu ensimbi nga bagamba nti bagenda kubayambako okwegatta ku Ggye lye LDU, songa kyabulimba.
Marina Esther 33 ne Abudul Chelengati 40 okukwatibwa kyadiridde abakola ku by’okwewandiisa okufuna amawulire nga waliwo abantu abadyekadyeka abagenda okwewandiisa nga bwe baamaze edda okukola ku nsonga zaabwe era nga we babakwatiddea nga bakamala okujja ensimbi ku bantu 470 okuva mu Disitulikiti 4.
Okusinznziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa eggye lye ggwanga ku mmande kyalaze nti Marina omutuuze we Bombo mu Luwero, yaggaliddwa ku Poliisi ye Maganjo nga kigambibwa nti ono yajje ku bantu abawerera ddala 220 ensimbi ezitanamanyika okuva mu Disitulikiti ye Namisindwa ne Manafwa, nga abategezezza nti agenda kubayamba okuwandiikibwa mu LDU e Kampala.
Bano 220 baasangiddwa nga bibasobedde ku kikomera ekimu mu kitundu kye Maganjo mu Kampala nga gwe balinda tebamulabako okutuusa aba LDU abakolamu kitundu kino bwe babasanze ne babanyonyola ne kyaddiridde kwe kukwata Marina.
Ate ye Chelengat yakwatiddwa kuva mu bitundu bye Wankulukuku mu Division ye Lubaga, nga eno yasangiddwa nga aliko abantu be yaleese okuva mu disitulikiti ze Sebei okuli Kapchorwa ne Bukwo abawerera ddala 250 nga nabo abasuubizza okubagatta ku LDU, era nag ayabadde amaze n’okubajjako ensimbi ezitamanyiddwa muwendo.
Ekiwandiiko era kilaga nti Chelengati yakolagana ne Ssentebe wa Old Kampala Zone Sam Omara okusobola okufunira ebiwandiiko abantu bano, era nga mu kiseera kino omara yabinnyise mu nsuwa talabikako.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com