OMULABIRIZI we Mukono Rt. Rev. James Williams Ssebaggala asabye abakulisitaayo okuvaayo okukola emirimu gya Katonda n’obwesimbu kyagambye nti ne Katonda bwabalaba nga bafaayo, naye abaanukula mu bye basaba.
Omulabirizi Ssebaggala agamba nti abakulisitaayo emabegako babadde balimu embeera gye yayise ey’obunafu ebadde egenda nga abayingiramu nga tebakyayagala kugenda mu masinzizo, yadde okuwaayo ku lw’emirimu gya Katonda kye yagambye nti kibadde kiyitiridde okuzza obukulistaayo emabega.
Okwogera bino yabadde ku Kkanisa y’obusabadiikono obuggya e Mpumu mu gombolola ye Ntenjeru, bwe yabadde akyalidde ku bakulisitaayo abawangalira mu Busabadiikoni buno, saako n’okulambula emirimu egikoleddwa mu kifo awali ekitebe ky’obusabadiikoni, omuli okuzimba ennyuma ya basumba nga kwotadde n’okuddabiriza ekkanisa.
Yagambye nti baasalawo okusuumusa obusumba bwe Mpumu okutuuka ku busabadiikoni kubanga baakizuula nti ekitundu kye kyaggwe kikula buli kadde, ate nga n’ekitebe gye kibadde e Ngogwe wala nnyo nga olugendo lukalubirira abasumba.
Omubaka wa maserengeta ga Mukono mu Palimenti Johnson Muyanja Ssenyonga era nga yeyakuliramu omulimu gw’okuzimba amaka ga Basumba ku kitebe e Mpumu yagambye nti ennyumba elina wetuuse era kati babuzaayo kitono, omuli okugiggala saako n’okugiyoyoota etuukane n’omutindo gwe kifo kino.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com