ABAKULEMBERA ekisinde kya People Power basomoozezza akakiiko ke by’okulonda mu Ggwanga nga abaagala bababulire lwaki bagaana enkungaana zaabwe nga kwotadde n’okukozesa Poliisi okuzitabangula, songa ye Pulezidenti Museveni atambula nga tewali amukuba ku mukono.
Bano bagamba nti kyeraga lwatu nti Pulezidenti Museveni yatandika dda kampeyini, nti era agenda akaba enkungaana mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo nti kyokka bbo bwe bagezaako okusisinkana abantu akakiiko ke by’okulonda kasindika Poliisi nebakuba saako n’okukwata banaabwe ne babasibira mu makomera ag’enjawulo.
Bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ku lw’okubiri mu lukiiko lwe baatuuzizza e Kamwokya ku nkingizzi z’ekibuga Kampala, omwogezi we kisinde kya People Power Joel Ssenyonyi yagambye nti bakukkulumira akakiiko ke byokulonda kubanga abamu ku banaabwe battiddwa mu buvuyo obukolebwa Poliisi nga egumbulula ab’oludda oluvuganya, nabalala kati bapoocha na bisago mu malwaliro agenjawulo lwa kulaga buwagizi bwabwe eri Omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu.
Yanokoddeyo omu ku bawagizi baabwe JohnBosco Kibalama eyabuzibwawo nga 3 omwezi guno, nagamba nti baagala poliisi ebabuulire wa gyali, saako n’emisango gye yazza.
“Tetugenda kutunula butunuzi nga eddembe lyabantu abamu lilinyirirwa nga kwotadde n’okukozesa obubi emmundu bigenda mu maaso, omuli n’abantu baffe abamu okuttibwa, twagala okunonyereza kugende mu maaso bazuule baani abali emabega w’obutemu bavunanibwe era baggalirwe” Senyonyi bwe yagambye.
Akulira akakiiko ke by’okulonda Omulamuzi Steven Byabakama bwe yatuukiriddwa ku nsonga z’okuyimiriza enkungaana z’aboludda oluvuganya yagambye nti teri muntu akkirizibwa kukuba kkampeyini mu kiseera kino, okutuuka nga ekiseera ekituufu ekikkirizibwa mu mateeka kituuse.
Yagambye nti ekya Pulezidenti Museveni okusisinkana abantu tekirina buzibu kubanga ye mukulembeze we ggwanga era amateeka gamuwa ebeetu okulambuala emirimu mu ggwanga saako n’okusisinkana abantu naddala nga aliko emirimu gyakola egy’obukulembeze bwe ggwanga.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com