AB’OLUGANDA lwa Ronald Ssebulime banyiivu olwa kye baayise Minisita Nantaba okwongera okubalaata n’atuuka n’okujaguza okusimattuka ‘abatemu’ nga poliisi yamala dda okukakasa nti, Sebulime yattibwa mu bukyamu, teyalina kakwate na bya kukola bulabe ku Minisita Famire ng’eyita mu looya waayo Nkunyingi Muwada, bafulumizza ekiwandiiko ku sande nga bagamba nti, Ssebulime yattibwa mu bukaymu abaserikale oluvannyuma lwa Nantaba okubawa amawulire amafu nti yali amulodoola.
Baategeezezza nti mu kiseera kino omuserikale Cpl. David Ssali avunaanibwa mu kkooti e Mukono naye Nantaba eyawa amawulire amafu ayinaayina era yatuuse n’okujaguza kye yayise okusimattuka ‘abatemu’.
Baagambye nti Ssebulime yaleka abaana bawala ate nga bali mu myaka mito, naye tebamanyi oba bano baneeyongerayo okusoma kuba kitaabwe ye yali abaweerera ate nga ne nnyaabwe yafa eyandibadde abeerawo.
“Tulina okutya nti abaana baffe bayinza okuremwa okusoma ekiyinza okubaviirako okufuna ebizibu eby’enjawulo naye Gavumenti tevangayo wadde okutuyamba nga mu kino tusaba ensonga zaffe bazikwate n’amaanyi kuba omuserikale waabwe yatta mwannyinaze nga tamaze kukola kunoonyereza kwonna”, Nakazibwe bwe yayongeddeko.
Basabye Ssaabalamuzi wa Uganda, Bart Katureebe, Ssaabawolereza wa Gavumenti William Byaruhanga n’ebitongole by’ebyokwerinda byonna okulaba ng’obwenkanya bubaawo.
Ronald Ssebulime yattibwa nga March 24, 2019 e Nagojje bwe yateeberezebwa okulondoola Minisita omubeezi owa ICT Idah Nantaba n’ekigendererwa eky’okumutemula.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com