• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Ngenda kuwasa eyetta yette, era sidda mu nnyumba ya Teddy gye baali banzitidde, Omusumba Bugingo ategezezza abagoberezi be

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
7 years ago
in Luganda, National, News
80 2
ShareTweetSendShare

EKKANISA ya House of Prayer Ministries yawuniikiridde ate oluvannyuma n’esaanikirwa enduulu ey’oluleekeleeke, OMUSUMBA Aloysius Bugingo bwe yalangiridde nti “ekiba kibe, maliridde okukuba embaga gwe kiruma yette!”.

Bugingo era yagambye nti ababadde balowooza nti wakyaliwo ku suubi ye okudding’ana ne mukyala owempeta Teddy Naluswa Bugingo, kye kiseera bave mu kuloota kubanga ye mu bulamu bwe tadda mabega, talina nsisi ate tasaaga

“ Nze Katonda yantonda kugenda mu maaso ssi kudda mabega, y’ensonga lwaki nkola eby’amagero”, Bugingo bwe yategeezeza ng’asinziira ku kituuti ku kkanisa ye eya House of Prayer Ministries International.

Bugingo yagambye abagoberezi be nti, agenda kukuba embaga makeke ekiba kibe.

Yababuuzizza oba nga banaamusonderako ku ssente z’embaga, abamu ku bagoberezi ne bakoteka emitwe wansi kyokka abalala ne basaakaanya nti ‘yeeeee musumba’ okwo ne bagattako enduulu.

Bugingo yagambye abagoberezi nti, waliwo empapula ze yalabye ku mikutu gya yintanenti eziraga okwawukana kwe ne mukyala we Teddy Naluswa Bugingo n’agamba nti, empapula ezo si ntuufu kyokka balindirire essaawa yonna aleeta entuufu era ajja kuziwaako ne Naluswa.

“Nze sigenda kudda wa Teddy ne bw’akola atya sisobola kudda mu nnyumba gye yali anzitiramu, nnina omukazi era ng’enda ku muwasa nammwe mujja kumulaba, abanansondera muli wa” Bugingo bwe yewanye.

Bwe yamaze okubategeeza ebyo ne bakkiriza nti bajja kumusondera n’akola katemba nga bw’ababuuza nti ‘Ndeete ndeete’ ne basaakaanya nti. ‘Leeta’ awo n’atulika n’aseka.

Bugingo azze asuubiza abagoberezi be okubanjulira omugole wabula buli lw’ajja mu kusaba baba basuubira nti anaamubalaga era buli lw’ababuuza nti ndeete baba bulindaala nga balowooza nti gw’agenda okubanjulira .

Yasoose kuddamu kwetondera bagoberezi be ne Bannayuganda olw’ebigenda mu maaso nti bamusonyiwe kubanga akimanyi nti nabo bayita mu buzibu kumpi bwe bumu bw’ayitamu.

Bugingo olwamaze okwetonda n’asumulula n’ategeeza nga bw’atakyayinza kuddira mukyala we Teddy Naluswa kubanga yasalawo kugenda n’abasumba abamuwalana obwedda b’ayita abafalisaayo ababadde baagala okumusanyaawo .

Yagasseeko nti mukayala we ne muwala we Doreen Kirabo  baasukka okumuswaza bwe badda ku mikutu gy’amawulire nebatandika okumuyita omubbi era omwenzi .

“ Omwana owange n’anzirako n’ampita omwenzi lukulwe, kati olwo ye abeera yaggya atya? kubanga nze ne Teddy twagattibwa mu bufumbo obutukuvu mu mwaka gwa 2008 kyokka ye Doreen twamuzaala mu mwaka gwa 1992 ekitegeeza nti naye twamuzaala mu kikolwa kya bwenzi era okwogera ebyo teyamala kukirowozaako kubanga amagezi alina matono nga nnyina ” Bugingo obwedda bw’awanda omuliro.

Bugingo yagambye nti, Teddy yamuwaayira nga bw’amukaka okwawukana era n’alaga n’empapula enjingirire ng’ayagala bamusaasire n’atamanya nti, yeesimira bunnya kubanga kati agenda kulaba ku mpapula z’okwawukana entuufu era essaawa yonna zimutuukako kubanga ye yakyerangirirako ng’omukazi wa katonda nga bwe yeeyita .

“Kagwake, keetonnye, sikyadda mabega, mwenna kati mukimanyi tekikyali kyama, nafuna omukazi omulala era ngenda kumuwasa essaawa yonna.” Bugingo bwe yategeezezza.

“Nze Teddy ne bwakola atya, k’ayogere mu mawulire okusuula enjuba sisobola kudda mu nnyumba y’e Kitende gye yali anzitiramu ngenda kubanjulira omukyala gwe ng’enda okuwasa essaawa yonna nammwe mumulabe” Bugingo bwe yategeezezza abagoberezi mu bumalirivu.


Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com
Share16Tweet10SendShare

Related Posts

Unwanted Witness boss Dorothy Mukasa
News

Unwanted Witness Hosts High-Level Synergy Breakfast to Drive Continental Data Protection Reform

26th November 2025 at 11:21
Dr. Ayub Mukisa (Ph.D.)
News

Dr.Ayub Mukisa: Why President Museveni’s Musevenism — Not Kyagulanyi’s Kyagulanyism — Will Deliver Beyond 2026

26th November 2025 at 09:35
News

President Museveni presents NRM manifesto to Kabale as he drums up support ahead of 2026 elections 

25th November 2025 at 21:47
Next Post

OP-ED: It is human nature that people want change when any leader has been in power for long

  • Prostitution in Uganda- Courtesy Photo

    10 dangerous hotspots known for prostitutes in Kampala

    1346 shares
    Share 538 Tweet 337
  • Uganda’s Billionaires 2025: Once Again Sudhir Ruparelia Leads a Resilient Pack

    153 shares
    Share 61 Tweet 38
  • NAGRC’s Super Goat Breed Poised to Transform Uganda into a Major Exporter

    3232 shares
    Share 1293 Tweet 808
  • LIST: New salary structure for civil servants starting July 2020 out; scientists, lecturers get juicy pay rise

    2363 shares
    Share 945 Tweet 591
  • One Of The Most Popular Payment Methods In South Africa: Vouchers

    12 shares
    Share 5 Tweet 3
Facebook Twitter

Contact Information

Watchdog Uganda is a portal for solution journalism, trending news plus cutting edge commentaries in the fields of politics, security, business, tourism, entertainment, technology, agriculture, climate change, environment, public health et al. We also give preference to Ugandan community news and topical discussions. The portal also publishes community news and topical discussions.

Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

Latest News

Unwanted Witness boss Dorothy Mukasa

Unwanted Witness Hosts High-Level Synergy Breakfast to Drive Continental Data Protection Reform

26th November 2025 at 11:21
Dr. Ayub Mukisa (Ph.D.)

Dr.Ayub Mukisa: Why President Museveni’s Musevenism — Not Kyagulanyi’s Kyagulanyism — Will Deliver Beyond 2026

26th November 2025 at 09:35

Check out

  • Trending
  • Comments
  • Latest

NAGRC’s Super Goat Breed Poised to Transform Uganda into a Major Exporter

17th September 2025 at 08:52
Minister Muruli Mukasa

LIST: New salary structure for civil servants starting July 2020 out; scientists, lecturers get juicy pay rise

24th May 2020 at 10:45
Sudhir Ruparelia is the undisputed king of Kampala

Billionaire Sudhir’s wisdom on how to invest in real estate

0

How a boy’s destiny turned from cotton grower to communications guru

0
Unwanted Witness boss Dorothy Mukasa

Unwanted Witness Hosts High-Level Synergy Breakfast to Drive Continental Data Protection Reform

26th November 2025 at 11:21
Dr. Ayub Mukisa (Ph.D.)

Dr.Ayub Mukisa: Why President Museveni’s Musevenism — Not Kyagulanyi’s Kyagulanyism — Will Deliver Beyond 2026

26th November 2025 at 09:35

© 2025 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News

© 2025 Watchdog Uganda