ENKUBA n’omuyaga ogwamaanyi mu kiro ekikesezza olw’okubiri bigoyezza abatuuze ku byalo ebyenjawulo mu Disitulikiti okuli Kamuli ne Buyende mu Busoga okukakkana nga abantu 17 bafudde ate amayumba, ebirime ne bisolo mu kitundu kino nabyo tebilutonze.
Okusinziira ku Cpt. Reagan Muganza omu ku bakulira abavubuka mu bwa Kyabazinga bwa Busoga agambye nti enkuba eno yatandise essawa nga mukaaga ogw’ekiro nga abantu abasinga beebase dda, okujjako abo ababadde bagenze mu bikujjuko bya Pasika ababadde bakyali wabweru.
Agambye nti bamaze okukakasa nti abantu 17 bafiiridde mu muyaga guno oluvanyuma lw’amayumba okubagwiira nga muno mulimu abaana abato, abakadde saako n’abavubuka, nga abalala banyiga biwundu mu malwaliro ebyabatusibwaako amafunfugu agamenyese okuva ku mayumba agagudde.
“Abantu baffe tebalina yadde kye basigazza mu kiseera kino kubanga anmayumba agawerako gonna gali ku ttaka, emmere yonna yayononeddwa omuyaga, abalala bafiiriddwa abantu baabwe, kale ekiseera kye tulimu kizibu nga abantu ba Busoga” Muganza bwe yategezezza.
Yanyonyodde nti bagezezzaako okutuukirira Gavumenti nga bayita mu Minisitule ye bibamba n’ebigwa bitalaze era ne babasuubiza okujja mu bwangu okuyambako mu nsonga eno.
“Era tukubiriza ne banaffe mu Ggwanga lyonna okuvaayo n’obuyambi obwenjawulo okusobola okuddukirira abantu bano basobole okuzzawo amaka gaabwe, eby’okulya saako n’okuyamba abatwaliddwa mu malwaliro nga bataawa” Mganza bwe yayongeddeko.
Wabula kitegerekese nti Poliisi, Amaggye n’abantu ba bulijjo bagenda mu maaso n’okuyamba abantu abafunye obuzibu mu kitundu kino.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com