BAKAWONAWO mu kabenje k’elyato ly’abadigize akaagwa ku kyalo Buzindeere mu Gombolola ye mpatta omwaka oguwedde, bazzeeyo ne beebaza Katonda era ne beeyama okukwasizaako abatuuze okusobola okuzimba Ekelezia esangibwa mu kitundu ekyo.
Bano baakulembeddwamu Omulangira David Kintu Wassajja saako n’abenganda z’abagenzi abaafiira mu mazzi, abeetabye mu kusaba okwategekeddwa ku biiki ya Mutima, era nga kwetabiddwamu abatuuze ku byalo ebirinanye ekifo kino.
Bwana mukulu we kigo kye Kisoga Faaza Pius Ddunga eyakulembeddemu okusaba kuno yagambye nti kilungi abantu okudda ewa Katonda naddala bwaba nga abawonyezza ebizibu eby’ekuusa ku kufa, era nasanyukira ekikolwa ekyakoleddwa Omulangira Wasajja ne banne.
Yabategezezza mu kubuulira kwe nti bakimanye nti amasanyu tegakoma, era bwe baba basanyuka balina okwegendereza kubanga buli kaseera sitaani naye abaako entegeka ze zaaba atwala mu maaso nga tebamanyi, nga buli kiseera kyetagisa okw’ewonga mu maaso ga Katonda nga tebanaba kukola kintu kyonna.
Ye Wassajja ku lwa banne yebazizza abantu bonna ababayamba mu kiseera ekizibu kye baalimu, era ne beeyama okuyambako ku mulimu gw’okuzimba Ekelezia ya St. Peters esangibwa ku kyalo mubanda, nga bajja kujjanga buli mwaka basabireyo olw’okujjukira enjega eyagwa mu kitundu kino eyaleka nga abantu 30 bafiiriddemu.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com