Bya Moses Kizito Buule
Omutegesi w’ebivvulu Balam Balugahara avuddeyo ne yesammula ebigambibwa nti abadde mabega w’okulemesa ekivvulu ky’omuyimbi omwatikirivu Bobi wine ekimanyiddwanga KYARENGA Concert, kyategekedde e Nnamboole nga 16 omwezi ogujja.
Nga asinziira ku mukutu gwe ogwa Face Book Balam yesamudde ebibadde biyitingana ku mikutu emigatta bantu, nga byekuusa ku mbeera abaddewo nga aba Namboole bazannya Bobi wine jjangu okwekule nagamba nti emu ku nsonga lwaki Bobi yafunamu okutataganyizibwa kyava ku kuba nti yali tanategeragana n’abaddukanya ekisaawe kye Namboole.
Asekeredde abalowooza nti ye ayinza okulemesa omuyimbi nga Bobi Wine nagamba nti okukola ekivvulu nagamba nti ye yategeka dda ebivvulu era abalinamu obumanyirivu bwamaanyi.
“Mubadde mutambuza wolokoso nti Balam yegasse ne Gavumenti okulemesa Bobi Wine kati byonna biwedde ekivvulu kigenda kubaayo e Namboole era muddemu mwogere, kambasomese kiyamba nnyo Gavumenti ffe kutegeka ebivvulu kubanga ekisooka bafunamu emsimbi nnyingi okuva mu musolo ku buli ayingira ekivvulu, Gavumenti esolooza omusolo okuva ku mafuta agakozesebwa buli eyetaba mu kivvulu, omusolo ku by’okunywa byonna omuli omwenge ne soda, sinze nfunamu okusinga oba munnaUganda omulala, wabula Gavumenti n’abategesi” Balam bwe yagambye.
“Naye kati byonna nga bwe biwedde kilungi njagaliza omubaka Kyagulanyi ekivvulu ekilungi wamu n’abategesi be, naye tuve mu kwetematemamu olw’ebyobufuzi ebitazimba Uganda ffenna yaffe.” Bweyayongeddeko.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com