Bya Moses Kizito Buule
ENTIISA ebutikidde abatuuze ku kyalo kya Central Nabuti ekisangimbwa mu kibuga Mukono, mutuuze munabwe bw’affiridde mu buliri ekibwatukira.
Omugenzi ategerekese nga Martin Masinde ng’abadde Musumba wa kkanisa ya Victory Family Church esangimbwa mu kitundu kino era nga yavuganyako ne ku kifo ky’obwa Ssentebe bwe kyalo kino mu kulonda okwakaggwa, nga yabadde amyuka ssabawandiisi mu kibiina ekitaba Abasumba mu Greater Mukono ekya Love Peace and Unity Pastor’s Destiny Forum.
Namwandu Diana Masinde agamba nti basuze ku Salt T.V nga basaba era ye oluvanyuma n’aleka bba mu ddiiro nagenda yeebaka, wabula ku ssawa kumi n’emu ng’abukya enkuba bw’eyatandiise okutonnya omugenzi kw’ekuzukuka n’atekaayo eppipa wabweru wabula yamutegezza nga bw’atebase bulungi olw’okuba nti abadde
alumizibwa mu kifuba era olwo naddayo mu buliri ne yebaka.
Namwandu yayogeddeko nti bwezaweze essawa kkuumi n’abbiri kwe kuzukuka okugenda mu ddiro okusaba naye eky’amujje enviri ku mutwe bwe yagenze okubaako by’amutegeza omubadde n’amuyita nga tamuwuuna olwo kwekumukwatako n’akizuula nti yabadde yaffudde dda.
Ye omuyima w’ekibiina ekitaba abalokole mu bendobendo lye Mukono Samuel Lwandasa ategezezza ng’amawulire g’okufa kw’omusumba munaabwe bwe bagafunye ku mankya era n’ebasalawo okuddukira poliisi e Mukono, bwe
yazze omulambo ne gutwala mu ddwaliro e Mulago okwekebejjebwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com