OMUBAKA wa Gavumenti mu Disitulikiti ye Buikwe Hajjat Hawa Ndege Namugenyi mwenyamivu olw’entalo ezifumbekedde mu bannakibiina kya NRM mu kitundu kino, kyagamba nti singa ensonga eno tekwatibwa mangu NRM eyinza okwongera okufiirwa ebifo by’obukulembeze nga bwe kyali mu kulonda okuwedde.
Yategezezza nti wasaana okubaawo ekikolebwa amangu ddala kubanga entalo zisusse e Buikwe ate nga bannaNRM benyini be basinga okwelwanyisa mu kifo ky’okutunuulira abalabe baabwe.
Yawadde eky’okulabirako engeri munnaNRM Nankabirwa Kimyanso gy’alwanyisaamu Minisita Dianah Mutasingwa nagamba nti naye nga omubaka wa Gavumenti olumu bimusukkako nti kubanga Nankabirwa agenda n’avuma Minisita n’amulengezza mu bantu ekilaga ekifananyi ekibi eri abantu be bakulembera saako n’okunafuya obuwagizi bwe kibiina.
Okwogera bino RDC Namugenyi yabadde mu kafubo n’abakulira offiisi ya Ssentebe wa NRM mu Greater Mukono ku mande, abaabadde bamukyalidde ne kigendererwa eky’okweyanjula nga bagenda okutandika okukola emirimu gyabwe mu butongole e Buikwe.
Yanyonyodde nti Disitulikiti ye Buikwe elina omubaka omu yekka owa NRM, nga abasigadde bonna ba ludda luvuganya, nti kyokka kimwewunyisa okulaba nga bannaNRM mu kifo ky’okukwatira awamu basobole okulaba butya bwe bazza abawagizi mu kibiina kyabwe basobole okuddamu okubalonda ate bbo benyini bakeera kwelwanyisa n’akweyonoona mu balonzi.
“Banange nsaba munyambeko tulabe bwe tunogera embeera eno eddagala, kubanga nga omukyala nange olumu binsukkako, bwe ndaba nga munaffe Nankabirwa atyoboola Minisita yuekka gwe tulina, kyokka ne bwe tugezaako okumutuuza tusale amagezi takkiriza, ndowooza mwe munagezaako tulabe bwe tuzza engulu obuwagizi bwa Pulezidenti Museveni ne NRM mu Buikwe ” Namugenyi bwe yagambye.
Yeyamye okukolera awamu n’olukiiko lwa ONC olw’alondebwa Pulezidenti gye buvuddeko, nasuubiza okubawa obuyambi buli kadde nga bamutuukiridde.
“Silina buzibu bwonna era tugenda kukolera wamu kubanga ebigendererwa byaffe ffenna bye bimu, wabula mumbuulirengako nga mugenda mu bantu nsobole okubawa obukuumi saako n’okwogera n’abakulembeze emirimu gisobole okwanguwa” bwe yayongeddeko.
Yo tiimu ya ONC eyakulembeddwamu Faisal Kigongo, Mulamira Gasheghu, Julie Nassuuna, Jamada Kivumbi nabalala, baasabye RDC ne tiimu ye eyeby’okwerinda mu Buikwe okukolera awamu okusobola okulaba nga Pulezidenti addamu okuwangula ekitundu kino.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com