ABABAKA mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu awatali kwesalamu balonze eyali omubaka wa Kabula mu Palimenti James Kakooza okukiikirira Uganda mu Lukiiko lwa East Africa.
Ono yagenda okudda mu kifo kya Hon. Mathias Kasamba eyafa gye buvuddeko, eyaliyo okuva mu mwaka gwa 2017.
Afunye obululu 183 obwababaka bonna ababadde mu palimenti etudde olwaleero, era nga teri muntu avuddeyo kumuvuganya yadde okuwakanya.
Kakooza yasooka kuyita ku banne ab’ekibiina kya NRM abamuwandako eddusu e Kololo gyebuvuddeko, ne basalawo abakwatire bendera mu kuvuganya okwali kugenda okubeerawo.
Kati ono akyalinayo omwaka n’okusoba nga akiikirira Uganda, nga mu mwaka gwa 2022 bagenda kuddamu okulonda ababaka abalala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com