OMUWABUZI w’omukulembeze we Ggwanga ku nsonga za mawulire Joseph Tamale Mirundi ayanukudde bannakibiina kya National Unity Platform NUP ababadde beefunyiridde okutwalaganya mutabaniwe Joseph Tamale Mirundi Junior, nga bamulanga okuboogerera ebisongovu, kyagamba nti tagenda kubaganya kumukozesa bamale bamusuule nga embwa etalina baayo.
Mirundi agamba nti omwana we mulenzi mugezi nnyo atasobola kukozesebwa bantu ba NUP abeenoonyeza ebyabwe, nti bano baali baagala afulumye amawulire ag’obulimba nti omukulembeze we Ggwanga afudde kye yali tayinza kukola.
“Mumaze ebbanga nga mwagala okusuula omwana wange mu bizibu naye ekimuyambye kuba mugezi kati yabaabulidde mumukole kye mumukola nange nja kufa nammwe” Mirundi eyabadde omukambwe bwe yagambye.
Gye buvuddeko abamu ku bawagizi be kibiina kya NUP baavaayo ne bafulumya amawulire ag’obulimba agaali galaga nti omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni avudde mu bulamu bwe Nsi, era ne batanula okugasaasanya ku mikutu emigatta bantu, nga kigambibwa nti ne Mutabani wa Mirundi baagezaako okumusaba ag’ongereyo engeri gyalina abantu abangi abamugoberera ku mitimbagano, kyokka nagaana nga kino kyatabula abamu ku bbo ne batandika okumuvuma naye n’abambalira.
Ono yabategeeza nti tasobola kugenda mu maaso na kufulumya mawulire gaabulimba kubanga yali akimanyidde ddala nti Museveni akyali mulamu tteke.
Wano okuyombagana we kwatandikira era naye naabaddamu ku mikutu era naanenya akakundi mu kibiina kya NUP akali emabega w’okukola bye yayita ebigenda okusuula ekibiina saako n’omukulembeze waakyo Robert Kyagulanyi Sentamu.
Omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni wiiki ewedde yavaayo naalagira abakuuma ddembe saako ne bambega ba Poliisi okukwata saako n’okuvunaana buli muntu yenna eyali yefunyiridde okutambuza amawulire ag’obulimba era nga bwe lutuukidde olwaleero nga abantu abasoba mu 10 bali mabega wa mitayimbwa.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com