Owekitiibwa Joyce Nabbosa Sebugwawo nga Ono abadde Meeya we Lubaga okumala ekiseera avudde mu mbeera nayanukula abamuwalarira nti asuulewo omulimu gw’obwaMinisita ogw’amuwereddwa Pulezidenti Museveni.
Museveni ku lw’okubiri lwa wiiki eno yafulumya olukalala lwa ba Minisita era naawa Sebugwawo ekifo ky’obwaMinisita omubeezi oweby’empuliziganya saako nokulungamya e Ggwanga, ekintu ekitaakola bulungi bannakibiina Kya FDC naddala Omuloodi wa Kampala Erias Lukwago saako n’omubaka wa Munisipaari ye Kira Ibrahim Semujju Nganda.
Bano amangu ddala baavayo ne bategeeza nti Sebugwawo bwaba omugezi asalewo yeesammule ekifo ekyamuwereddwa Museveni kye baagambye nti kino kyandiba nga kigendereddwamu kunafuya Kibiina Kya FDC, era ne bongerako nti bwatwala ekifo ekyo alindirire okugwira ddala mu by’obufuzi.
Wabula yadde nga Sebugwawo munnaKibiina Kya FDC mukukutivu era nga ne mu kiseera kino yoomu KU bakulembeze baakyo ab’okuntikko, bino byonna yabigaanye nagamba nti tasobola kusuulawo mulimu gwamuwereddwa mukulembeze wa Ggwanga olwa kye yayise okugwa mu by’obufuzi nga banne bwe bagamba.
Agamba nti abantu bano mu kulonda okuwedde baaleka Kyagulanyi naamuletako omuntu namwesimbako era namuwangula, wano neyebuuza bulijjo baali ludda wa nga ebyo byonna bikolebwa?
“Banange abangamba okuleka omulimu Museveni gwe yampadde Kati nina mulimu ki nga byonna mwabinzijako sikyali Meeya, lwaki temwayogera ne Kyagulanyi nandeka oba mwali munjagala nnyo, bye mugamba okugwa mu byobufuzi nagwa dda ate mwe mwansuula mundeke mpereze e Ggwanga lyange” Sebugwawo bwe yagambye
Yayongeddeko nti buli kimu akikoze okulaba nga oludda oluwabula Gavumenti lubaawo naddala ekibiina Kya FDC, nagamba nti kyokka yewunya abantu abaamuseketerera e Lubaga mu kulonda okuwedde ne bamusuuza ne ekifo kye, wano ne yebuuza nti bwe yalina okusasulwa okusinziira ku maanyi ge yassangamu ne sente ze nga omuntu?
Sebugwawo amanyiddwa nnyo nga omuntu w’obwaKabaka bwa Buganda ennyo nga kwotadde n’okuba omukatoliki owamaanyi mu Kampala,
Kati alindirira kakiiko akasunsula abalondeddwa Pulezidenti okumusunsula atandike emirimu gyemu butongole.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com