POLIISI ye Ggwanga egaanye omukulembeze we Kibiina kya National Unity Platform Hon. Robert Kyagulanyi Sentamu okukungaanya abantu abangi bwanaaba agenda okuwaayo ekiwandiiko kye eky’emulugunya ku biliwo ne byaliwo mu kulonda okuwedde ku kitebe kya mawanga amagatte e Kololo.
Olunaku lwa mande Kyagulanyi bwe yali ayogerako ne bannamawulire ku kitebe kya NUP e Kamwokya yakunze bannaUganda okumuwerekerako nga atwala ekiwandiiko kino e Kololo, Poliisi kyegamba nti teyinza kumukkiriza kutambula nabantu bangi mu kibuga.
Omwogeze wa Poliisi mu Kampala ne miriraano Patrick Onyango ategezezza nti bakkiriza nti ddembe lya Hon. Kyagulanyi okukola emirimu mu Ggwanga awatali kukubwa ku mukono, nti kyokka ensonga y’okukungaanya abantu tebajja kigikkiriza mu kibuga wakati.
Amuwadde amagezi okugenda n’abantu 3 bokka baweyo ekiwandiiko kyabwe eri abakungu ku kitebe kya Mawanga amagatte nga tebataddewo mbeera yakukyankalanya bannaUganda abagenda okuba ku mirimu gyabwe.
Kyagulanyi azze yemulugunya ku byaliwo mu kulonda okuwedde omuli obubbi bw’obululu, okutulugunya abawagizi be, okukwekengera abalamuzi ne bilala nga kiteberezebwa okuba nti bye bimu ku bigenda okuteekebwa mu mugugu gwe kiwandiiko kyatwalira abakulu ku kitebe kya mawanga amagatte.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com