OMUKULEMBEZE we Ggwanga era nga yakwatidde ekibiina Kya NRM bendera mu kulonda okubinda binda Yoweri Kaguta Museveni akukulumidde akakiiko ke by’okulonda nga agamba nti naye bamusibye okukukola enkiiko ze kyokka nga abadde agoberera amateeka get byobulamu.
Museveni agamba nti ye muntu agoberera amateeka era kuzibu okugamenya, nti kyokka akakiiko tekamulowozezzaako ne kasalawo okumugatta ne banne bwe bavuganya ababadde bagamenya, kyagamba nti kigenda kumunyiga nnyo nabantu be.
“Nze mbadde nkuba enkiiko za Bantu 200nga bwe baatulagira kyokka abalala nga bakungaanya abantu abangi ennyo nga tebafuddeyo KU bulamu bwabwe olwe kirwadde Kya Covid ekyongedde okwakaliisa, nabadde ndowooza nti nze bagenda kungamba ngende mu maaso ne nkiiko eziri mu mateeka kyokka nange akakiiko tekantalizza” Museveni bwe yagambye
Okwogera bino yabadde ayogerako eri bannaMukono KU mikutu emigatta Bantu, oluvanyuma lw’okukyala mu Disitulikiti Eno nabaako emirimu gyakola nga omukulembeze we Ggwanga omwabadde okuggulawo amakolero, enguudo, Radio yobukulisitaayo saako n’omuzikiti omukulu mu Mukono.
Yanyonyodde nti tagenda kujeemera kakiiko kano, kubanga abakakulira bwe baba nga bwe basazeewo ku lwobulamu bwa bannaUganda kyalina okukola kwe kugonda asale amagezi amalala mwagenda okuyita okunoonya akalulu mu nnaku ezisigaddeyo.
Yakubirizza bannaMukono okufaayo okukozesa ebintu Gavumenti byekoze nobwegendereza nti kubanga bitutte ensimbi nnyingi ate nga be bawa okusolo be kisobozesa Gavumenti okubikola.
Yanokoddeyo enguudo, amasanyalaze, amazzi be bilala bye yayogeddeko nti byamugaso nnyo eri obulamu bwabwe nga mu mbeera eyo byetaaga okukuuma butiribiri.
Yabajjukizza okumulonda nga ennaku z’omwezi 14 saako ne banne bwe balina bendera ye kibiina Kya NRM era nasaba bannaUganda okukuuma emirembe…
caption Pulezidenti Museveni wakati ne Mukyalawe nga beegatiddwako omulabirizi we Mukono James Williams Sebaggala oluvanyuma lwokuggulawo leediyo yobulabirizi MBS fm.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com