ABAKULEMBEZE mu kibiina kya NRM balagidde Ssabaduumizi wa Poliisi ye Ggwanga Okoth Ochola okunoonyereza ku bikolwa eby’effujjo ebyakoleddwa mu Disitulikiti ye Kyotera, nga kigambibwa nti Minisita Haruna Kyeyune Kasolo era nga ye Mubaka we Kitundu kino yabibaddemu n’omukono.
Effujo lino lwatwaliddemu n’obulamu bw’omuntu omu, nga kigambibwa nti Poliisi ye yamukubye amasasi nga egezaako okuyimiriza okukakkanya abawagizi ba Ssentebe we Kyotera aliko Patrick Kintu Kisekulo ababaadde bayisa ebivvulu mu gombolola ye Nabigasa mu Kyotera.
Kigambibwa nti Ssentebe Kintu Kisekulo bayawukana ne Minisita Kasolo oluvanyuma lwa Charles Lubega Ziriddamu okumumegga mu kamyufu ke Kibiina era nakomawo ku bwa namunigina alwanire entebbe mwali kati.
Abakulu mu NRM nga bakulembeddwamu omuwanika we Kibiina Rose Namayanja Nsereko, olunaku lwe ggulo baatuzizza olukungaana lwa bannamawulire ne bategeeza nga bwe bamaze okulagira akulira Poliisi mu Ggawmnga Okoth Ochola anoonyereze ku nsonga zonna ezaabadde e Kyotera.
Ono yagambye nti n’olukungaana olwakubiddwa Minisita Kasolo telwabadde mu mateega agafuga enkungaana ezalambikibwa ku lwe kirwadde kya Covid 19, nti kubanga abantu baabadde bangi nnyo ekiyinza okuletawo ekirwadde okwongera okusaasana.
“Ne Bannakibiina banaffe abalala tubategeeza nti mukomye okukuba enkungaana gaggadde, kubanga bwe munakikola omukono gwa mateeka gujja kubakwatako, ne kilala mufeeyo ku bantu bammwe abagenda okubalonda kubanga tebajja kubalonda nga balwadde oba nga bafu” Namayanja bwe yagambye.
Minisita Kasolo bwe yatuukiriddwa ku nsonga zino yagambye nti mu kiseera effujjo we lyabereddewo yabadde mu Gombolola ye Lwankoni nga anoonya kalulu nagamba nti ebyakoleddwa tabilinaamu yadde omukono.
Wabula yenyamidde olw’abavubuka abatambula nga beewera okutuusa obulabe ku bawagizi ba NRM, nagamba nti abo bbo wakuttunka nabo.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com