Poliisi e Rwampara elinnye eggere mu lukungaana olubadde lutegekeddwa omu ku beesimbyewo ku kifo ky’obukulembeze bwe Ggwanga Gen. Henry Tumukunde okusisinkana abalonzi be ku kisaawe Kya Kinoni naatabuka kata ayiseemu abagikulira empi ez’amangu.
Tumukunde atuuse mu kifo kino ku ssaawa kumi era nga abawagizi be babade baamaze okuteeka weema mu kisawe kino, wabula amangu ddala nga yakatuuka, Poliisi nga eddumirwa omusilikale ategerekese nga ye ASP Opio eyungudde basajja bayo ne basalako ekisaawe okutangira abawagizi be okugenda gyali ekimuggye mu mbeera.
Ono bwatuse ku lugudo abadde aba poliisi abalagidde okuvawo baleke abantu be baggye gyali naye ne bagaana era nga ekiddiridde kulya matereke nabo nga bwabalangira obutamanya kyakukola.
Wano Tumukunde abadde omunyiivu eby’ensusso abuzeeko katono okuggwa akulira poliisi mukitundu kino ASP Opio malaka, amulabudde okukomya okw’eyingiza mu by’obufuzi era namulabula nti wa kumukuba mu mbuga z’amateeka ng’amulanga kugezako kulemesa nkungaana ze.
Poliisi ennaku zino egufudde mugano okulemesa abali ku ludda oluvuganya Gavumenti okukuba enkungaana.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com