• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Okuvuganya e Kigulu South; Omuvubuka Luke Kisubi Mbigiti owa NRM amaliridde okusigukulula omubaka Andrew Kaluya mu Palimenti

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
5 years ago
in Luganda, National, News, Politics, Voices
11 0
Luke Kisubi Mbigiti (Left) and  Andrew Kiiza Kaluya

Luke Kisubi Mbigiti (Left) and Andrew Kiiza Kaluya

ShareTweetSendShare

EBY’OBUFUZI mu Ssaza lye Kigulu South mu Disitulikiti ye Iganga mu Busoga by’eyongedde okulinnya enkandaggo, Omuvubuka embulakalevu Luke Kisubi Mbigiti bwavuddeyo avuganye ku kifo ky’obubaka mu lukiiko lwe Ggwanga olukulu akiikirire abantu baayo.

Ekifo kino mu kiseera kino kilimu Omubaka Kiiza Andrew Kaluya, era nga Kisubi agamba nti kuluno ayagadde addeyo ewaabwe awaka abeeko byayambako ku batuuze gyazaalibwa,  nga omu ku kawefube w’okubaako kyazza mu kitundu okubeebaza okumuzaala saako n’okumukuza.

Kisubi gwe twasanze ku kyalo Kakombo gyazaalibwa ekisangibwa mu muluka gwe Wailama mu Gombolola ye Nakigo e Iganga ennaku zino gyasimbye amakanda oluvanyuma lw’okunoonya akalulu okufuuka okwa Sayansi yanyumizzaamu naffe bwati;

Nzaalibwa omwami David Kisambira ne Maama Alice Jenifer Kisambira abatuuze ku Kakombo kuno kwe nnyini, era nga n’okusoma kwange nakutandikira ku kuno olwo ne neeyongerayo mu Ssomero lya Buwesa Pulayimale elisangibwa mu Tororo, nga eyo gye natuulira ekibiina ky’omusanvu era ne mpitira waggulu.

Neegatta ku ssomero lya Bukedi College Kachonga mu Butaleja eno gye natuulira siniya ey’okuna, Oluvanyuma nga mpise bulungi nasobola okweyunga ku MM College Wailaka gye natuulira siniya yange ey’omukaaga.

Ebigezo nga bikomyewo neegatta ku Ttendekero lye Makerere ne nsoma Diguli yange eyasooka mu Busomesa era ndi musomesa omutendeke.

Nasalawo okuddayo okwongera ku bitabo kubanga ekiseera ekyo kyali kya kuvuganya nnyo ku mirimu, era ne nkola Dipuloma mu by’okukulira abakozi (Post Graduate Diploma in Human Resource Management) mu Ttendekero lya UMI Uganda Management Insititute, era ne nzirayo ne nkola Diguli ey’okubiri mu mulimu gwe gumu.

Kisubi nga mu kyalo mu kawefube w’okuwenja akalulu nju ku nju

Ndi musajja muyigirize era nkioleddeko mu bitongole bingi nga akulira abakozi era mu kiseera kino nze akulira abakozi mu kitongole kya AIDS HEALTH CARE FOUNDATION, nga eno okukolerayo kunyambye okwetegereza embeera abantu ba wansi mwe bayita kye njagala okukola ewaffe ku butaka gye nzaalibwa e Busoga.

Bwe nali nkola ne kitongole kya WORLD VISION era nga nze nali nkulira abakozi mu kiseera ekyo, kyampa amaanyi n’okulowooza ku mbeera abantu baffe gye bayitamu mu byalo, era ne nkizuula nti abantu bwe baba n’omukulembeze afaayo basobolera ddala okufuna obuyambi okuva mu Gavumenti ne bitongole by’obwanakyewa, kubanga twayamba abantu bangi okubafunira we basula, eky’okulya, amazzi amayojo mu bitundu byabwe  saako n’okusoma kwa baana kyokka nga bakulembeze baabwe be batutuukiriranga ne ngamba nti ne waffe kisoboka.

Awo we najja omutima ne ngamba nti ekiba kibe naye nina okuddayo ewaffe mbeeko kye nkola kubanga sisobola kuyambako nnyo nga siri mukulembeze.

Nga Omuntu ewaffe nsobodde okubaako bye nkolayo mu maanyi gange nga Kisubi omuli okuyambako ku baana abanaku okusoma, okuyambako ku bibiina bya Bakyala okwekulakulanya nga nzija mu nsawo yange, naye mmanyi nti singa mpitamu kijja kuba kinyanguyira kubanga ebitongole ebiyamba abantu ebisinga mbimanyi era nababikulira tukolagana.

Kisubi byayagala okukolera abantu be Kigulu South

Nja kwettanira nnyo okunoonyeza abantu baffe obutale bwe birime nga akasooli, ebinyebwa ne mwanyi naddala ebweru we Ggwanga, kubanga bambi ewaffe abantu balimi nnyo naye badondolwa nnyo abasuubuzi be mmere saako ne mwanyi.

Ensonga y’okwongera okubunyisa amasanyalaze naddala mu byalo nkulu nnyo, kubanga ensi kati etambulira ku misinde gya kizungirizi nga abatalina masanyalaze tebakyasobola kukola bizinensi.

Eby’obulamu e Kigulu bibadde bikyali bubi nga amalwaliro mu kitundu kino gonna mafu nnyo, era nga bannabyabufuzi beeno bagafaako mu biseera byakunoonya bululu bwokka kye njagala kikome kubanga bannaKigulu South nabo bannaUganda abeetaaga okufaako nga abalala.

Ekyamazima Katonda ampadde, nga abantu bangi beetaaga okubaako bye banjigirako naddala bavubuka banange, era nga ensonga y’obwegassi egenda kuba ku mwanjo nnyo kubanga okukulakulana okw’omuggundu we kugenda okutandikira.

Kisubi nga ali mu kibiina kya Bakyala ekisangibwa e Nakigo, bwe yali abasomesa ebikwata ku nkulakulana y’amaka gye buvuddeko

Okugatta abantu mu kiseera kino nsonga nayo nkulu nnyo kubanga abasinga babadde beeyawuddemu nnyo olw’ebyobufuzi ebitabayamba nga essira tugenda kuliteeka nnyo ku kubayigiriza kukola basobole okwejja mu bwavu.

Abakyala abo nina akaama kaabwe kubanga ngenda kufuba nnyo okulaba nga mbagatta wamu mu bibiina basobole okubaako kye bakola ekireeta ensimbi mu nsawo nga olwo lwe bajja okusobola okulabirira amaka gaabwe nga tebegayiridde baami ennaku zino abatafaayo mu kusomesa baana.

Enyingiza ya maka egenda kuba nsonga nkulu nnyo kubanga abantu abamu ewaffe baavu nnyo songa bambi bandiyagadde nabo okubeerako mu mbeera ennungi nga bakozesa ettaka kwe bali okulirimirako beekulakulanye.

Kisubi avuganyiza ku kaadi ye kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM, songa munne Andrew Kaluya mu Palimenti yagendayo nga talina kibiina.

 

 


Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com
Share2Tweet2SendShare

Related Posts

News

Hudu Hussein’s MP Bid Gathers Steam as Clan Leaders Endorse EX RDC Sole Candidate 

17th September 2025 at 00:19
News

Dr. Musoke Kisanja awarded global medal in UK 

16th September 2025 at 10:32
News

40 RDCs flagged-off for entrepreneurship training in India

16th September 2025 at 07:16
Next Post

Eid Al-Adha:Muslims who didn't make it to Mecca over covid-19 urged to use money to construct mosques

  • Kampala’s Nakivubo Channel Set for Transformation Under HAM Enterprises’ Visionary Project

    334 shares
    Share 134 Tweet 84
  • Haruna Towers the 16-floor masterpiece rising at Wilson Road to Transform Kampala’s Skyline forever

    241 shares
    Share 92 Tweet 57
  • Is Tycoon Sudhir Turning Crane Bank Properties into Supermarket Chain?

    219 shares
    Share 88 Tweet 55
  • Ham-Haruna: Two Brothers Unrelentingly Pushing Uganda Beyond Known Limits

    100 shares
    Share 40 Tweet 25
  • ### Sudhir Ruparelia Unveils One-10 Apartments: A New Era of Luxury Living in Kampala’s Heart

    92 shares
    Share 37 Tweet 23
Facebook Twitter

Contact Information

Watchdog Uganda is a portal for solution journalism, trending news plus cutting edge commentaries in the fields of politics, security, business, tourism, entertainment, technology, agriculture, climate change, environment, public health et al. We also give preference to Ugandan community news and topical discussions. The portal also publishes community news and topical discussions.

Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

Latest News

Hudu Hussein’s MP Bid Gathers Steam as Clan Leaders Endorse EX RDC Sole Candidate 

17th September 2025 at 00:19

Dr. Musoke Kisanja awarded global medal in UK 

16th September 2025 at 10:32

Check out

  • Trending
  • Comments
  • Latest
Minister Muruli Mukasa

LIST: New salary structure for civil servants starting July 2020 out; scientists, lecturers get juicy pay rise

24th May 2020 at 10:45
Pregnant woman

Shock as 17-year old boy impregnates his two sisters during Covid-19 lockdown 

17th June 2020 at 08:17
Sudhir Ruparelia is the undisputed king of Kampala

Billionaire Sudhir’s wisdom on how to invest in real estate

0

How a boy’s destiny turned from cotton grower to communications guru

0

Hudu Hussein’s MP Bid Gathers Steam as Clan Leaders Endorse EX RDC Sole Candidate 

17th September 2025 at 00:19

Dr. Musoke Kisanja awarded global medal in UK 

16th September 2025 at 10:32

© 2025 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
    • Media Outreach Newswire
    • Africa News
    • Tourism
    • Community News
    • Luganda
    • Sports
      • Football
      • Motorsport
  • Op-Ed
    • #Out2Lunch
    • Conversations with
    • Politics
    • Relationships
  • Business
    • Agriculture
    • CEOs & Entrepreneurs,
    • Companies
    • Finance
    • Products
    • RealEstate
    • Technology
  • Entertainment
    • Lifestyle
  • People
    • Showbiz
      • Salon Mag
  • Special Report
    • Education
    • Voices
  • Reviews
    • Products
    • Events
    • Hotels
    • Restaurants
    • Places
  • WD-TV
  • Donate
  • China News

© 2025 Watchdog Uganda