OMUBIRI gwa munnansi we Ggwanga lya Germany Bernhard Glaser eyafiira mu kkomera e Luzira gye buvuddeko gw’akwokebwa ku lw’okubiri nga bwe yalaama oluvanyuma aziikibwe e Kalangala.
Glaser mu kiseera we yafiira yali avunanibwa emisango omuli okukabasanya amabujje nga yeerimbise mu kubayamba era omulamuzi e Masaka naamusindika ku alimanda mu kkomera ekkulu oluvanyuma naggibwayo natwalibwa e Luzira olw’embeera y’obulwadde bwa kkansa obwali bumusumbuwa nga bunyinyitidde.
Oluvanyuma bannamateeka ba Glazer baddukira mu kkooti ne basaba omulamuzi amute atwalibwe ajjanjabwe kyokka ne balagirwa okusasula ensimbi obukadde 30 ezabalema naddizibwayo mu kkomera e Luzira gye yafiira sabiiti ewedde.
Okusinziira ku bannamateeka ba Glazer bagamba nti omukulu ono yali yalaama okuzikibwa mu Uganda ku kizinga kye Kalangala, naye nga abakungubazi balina kuziika vvu oluvanyuma lw’okwokebwa.
Ekitongole kye by’obulamu ekya KCCA kikakasizza omulimu gw’okwokya omubiri gw’omuzungu ono era agenda kwokebwa mu kifo ekimanyiddwanga Hindu Crematorium afuuke evvu oluvanyuama atwalibwe e Kalangala gyagenda okuziikibwa mu kifo ekimanyiddwanga Ssese Humanitarian Services and Bery’s Place.
Kinajukirwa nti ono okufa abadde akyawerennemba ne Misango okuli okukabasanya amabujje agatalina mwasirizi ge yali alabirira mu makaage mu Disitulikiti ye Kalangala.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com