SSENTEBE wa kakiiko ke by’okulonda Omulamuzi Simon Byabakama alabudde abantu abatanagenda kukebera nkalala za balonzi mu bitundu byabwe, nagamba nti tebalina ntekateeka yakwongezaayo nnaku ndala mu maaso nga abantu abamu bwe babadde basaba.
Kino kidiridde abakulira ebitongole by’obwanakyewa okuvaayo ne bategeeza nga bwe waliwo obwetaavu okuva mu balonzi eri akakiiko k’ebyokulonda okwongezaayo kko ku nnaku ze baatekawo okukebererako enkala z’abalonzi, nga beekwasa nti bangi ku bbo bandisigalira emabega.
Wabula nga asinziira mu lukungaana lwabannamawulire olwatuuziddwa ku kitebe ky’ebyokulonda mu Kampala ku lw’okubiri Byabakama yagambye nti tebalinaawo ntekateeka yakuddamu kwongezaayo ku nnaku ezatekebwawo, kubanga baalowooza nti ekiseera kimalira ddala bulungi.
“Tubasaba abalonzi baffe abalungi mukozese ennaku 6 ezisigaddeyo mwekebere ku nkalala eziri mu bitundu byammwe gye mulondera kubanga nga 11 omwezi guno tujja kuba tuggalawo entekateeka eyo, anasigalira emabega ssi wakwetaba mu kulonda kwa 2021” Bwe yagambye Byabakama.
Yanyonyodde nti amateeka agafuga eby’okulonda gagamba nti omuntu alina okufuuka omulonzi nga amaze okuweza emyaka 18, sso ssi nti afuuka nga okulonda kutuuse nga abamu bwe baagala okuyingizaamu abantu abatannaba kuweza myaka egyalagirwa, nagamba nti abo bonna abanaweza emyaka 18 nga 11 December luyiseewo bajja kuba ssi balonzi.
Abaana abali mu masomero abawezezza emyaka 18 mu kiserra kino yabagambye nti balina nabo okugenda mu bitundu gye baagala okulondera nga balina endaga muntu zaabwe ezikakasa emyaka gyabwe bawandikibwe basobole okukwetaba mu kusalirawo Eggwanga lyabwe ku bakulembeze mu mwaka 2021.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com