MINISITA avunanyizibwa ku Lukiiko, Kabineeti, Amawulire, Abagenyi, era Omwogezi w’Obwakabaka
Owekitiibwa Noah Kiyimba akinoganyizza nti ensimbi eziwerera ddala obuwumbi 6 bwe busasanyiziddwa mu kawefube w’okuzaawo amasiro ga ba Ssekabaka e Kasubi mu Kyadondo.
Mu Mwezi gw’okusatu omwaka gwa 2006, nabbambula w’omuliro yakwata era nasaanyaawo amasiro g’e Kasubi nga gano mwemuterekebwa ba Ssekabaka ba Buganda abana omuli Muteesa I, Daniel Mwanga, Daudi Chwa ne Edward Muteesa II.
Amasiro gano gaalondebwa ekitongole ky’amawanga amagatte ekya UNESCO ng’ekimu ku bifo eby’enkizo ennyo mu Nsi yonna.
Obwakabaka Bwa Buganda bwatandika omulimu gw’okugazzaawo okuva mu 2013 oluvanyuma lw’okulondebwa kwa Charles Peter Mayiga kubwa Katikkiro.
Nga buyita munteekateeka ez’enjawulo nga Ettoffaali, Owekititiibwa Kiyimba agambye nti Obwakabaka bwakasaasaanya ensimbi obuwumbi 6, 064,347,329.
Anyonyodde nti Ku buwumbi obuna Obwakabaka bwe bwakakunganya, 2, 594,879,605 zaakozesebwa mukuzimba bbugwe okwetooloola amasiro gonna agawaza yiika 64 okusobola okutangira ababbi n’abasenze okusaalimbira ku ttaka lino.
Era essente zino zaakozesebwa n’okuddaabiriza Bulinnya, ennyumba entongole Naalinnya w’amasiro mwasula saako n’amayumba amalala abalabirira amasiro mwe basula nga kwotadde okussaamu amasanyalaze gen juba okwetolola ekikomera kyonna n’amazzi.
Gavumenti ya Uganda ng’egoberera ekiteeso kya kabineeti nayo yawaayo obuwumbi bubiri n’esuubiza nti singa Obwakabaka bunaagiwa embalirira ya ssente zino, baali baakubwongera ssente endala okusobozesa omulimu okuggwa nga mulungi.
“EKyaddala enkozesa y’obuwumbi obubiri yabaweebwa era olw’okugisiima, gavumenti yakiriza okwongera Obwakabaka obuwumbi obulala bubiri, ng’akubuno Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ku Mmande nga 18/11/2019 yatuwaddeko obukadde bisatu” Kiyimba bwe yanyonyodde.
Yayongeddeko nti Omulimu g’okuzimba Muzibwazaalampanga ng’eno y’ennyumba enkulu gubulako katono okuggwa, nagamba nti n’akasolya akamanyiddwa nga Ddaali akasinga obuzibu bitundu kyenda kubuli kikumi kawedde, era nga kasiigiddwa n’erangi akaziyiza okutalagga wamu n’okukwata omuliro, ng’eno yaggibwa mu Bugirimaani.
Gavumenti ya Japan ng’eyita mukitongole kya Unesco, yasuubiza okuwa obwaKabaka ebyuma ebizikiriza omuliro era bino byakuteekebwa mumasiro mukaseera katono.
Asuubizza nti Obwakabaka bukola kyonna ekisoboka okulaba ng’amasiro gamalirizibwa era nga buli muzizo saako obulombolombo bwonna obwetagisa mumulimu guno bigobereddwa bulungi.
Yebazizza buli muntu yenna alina kyeyawaayo omuli essente, ebizimbisibwa saako n’abo abawaddeyo amaanyi gaabwe okulaba ng’amasiro gazimbibwa.era nakakasa abantu ba Buganda nti buli ekirina okukolebwa kiggya kkolebwa okulaba ng’amasiro g’e Kasubi gaddizibwawo kumutindo gwe gaaliko kubanga y’entabiro y’obuwangwa bwa Buganda
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com