AKAKIIKO ke by’okulonda kagenda kusasaanya obuwumbi 7 n’obukadde 100 mu nkola y’okuddamu okutereeza enkalala z’abalonzi okwetoloola e Ggwanga lyonna, nga okulonda okwe 2021 tekunatuuka.
Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku kitebe kya kakakiiko mu Kampala ku lw’okuna, Omulamuzi Simon Byabakama akulira agambya nti, enkola eno yatandise olunaku lwe ggulo n’okulaga abagenda okulondoola okulonda ku magombolola butya bwe bajja okukikola, olwaleero bali ku ba miruka saako ne ba Ssentebe b’obukiiko bwe byalo enkola eno gyegenda okutambulira.
Byabakama agambye nti enkola eno tetandise butandisi kubanga babadde bagikozesaa yonna okulonda gye kubadde okwokuddamu, era bakizudde nti ekola bulungi, kubanga bafuna amawulire agakwata ku balonzi benyini mu kitundu ekyo ne bagagatta ku biri ku nkalala za balonzi mu kitundu olwo ne bafuna abalonzi abatuufu.
Ayongeddeko nti abakozi ba kakiiko bagenda kweyambisa obukiiko bwe byalo okujjamu abantu abaafa ku nkalala, saako naabo abagaala okukyusa ebifo we balondera, mu bitundu awakyali emirerembe mu bukulembeze agambye nti akakiiko kagenda kunoonya ab’obukiiko bwe byalo obukadde bakolagane nabo okusobola okutwala omulimu mu maaso oluvanyuma enkalala zitimbibwe.
“Nga gwe mulundi ogusoose akakiiko ke by’okulonda kagenda kukungaanya enkalala z’abalonzi bonna abalina obulemu ku mibiri gyabwe ku byalo byonna okusobola okumalawo okukayana okubaddewo nga abamu bagamba nti waliwo abayingira ku nkalala nga si balema” Byabakama bwagambye
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com