MINISITA omubeezi avunanyizibwa ku nsonga z’abaana n’abavubuka Florence Nakiwala Kiyingi alidde mu ttama n’alagira Omusumba we Kkanisa ya House of Prayer Ministry Aloysias Bugingo okujja bunnambiro ensonga ezikwata ku makaage mu mawulire, kyagambye nti kijja kumuyamba nnyo ye ne Mukyalawe Teddy Bugingo okuzigonjoola mu kasilise nga tewali ategedde.
Nakiwala okwogera bino abadde asisinkanye omusumba Bugingo, saako ne Mukyalawe Teddy eyamuwabira gye buvuddeko nga amulanga okwesuulirayo ogwannagamba n’agaana mu bugenderevu okusasulira abaana ebisale bye ssomero, saako n’okugaana okulabirira amakaage.
Nakiwala agambye Bugingo nti amawulire tegalina kye gagenda kumuyamba wakati mu kugonjoola nsonga za makaage, okujjako okwongera okugasattulula, namusaba akomye buli kasonga okukaddusanga mu mawulire ku lwe kitiibwa kye ne Mukyalawe.
Amusabye okutwala obuvunanyizibwa bwa makaage nga taata awaka, era namugamba nga bwalina okusasula ebisale bye ssomero eri buli mwana saako n’okubalambulanga buli kadde kubanga tebalinaayo taata mulala.
Omusumba Bugingo byonna Minisita byamugambye abikkirizza era namutegeeza nga bwatagaanangako kulabirira makaage, yadde okusasula ebisale bye ssomero, wabula nagamba nti ayagala ab’obuyinza bakake Teddy amukkirize alabenga ku mwana omuto kubanga abadde amaze ebbanga ddene nga tamulabako, nga mumazima abadde akalubirirwa okusasulira omwana ebisale bye ssomero gwatamanyi bulungi.
Oluvanyuma Bugingo mu ngeri ya katemba asazeewo okusabira buli abadde mu offiisi ya Minisita Nakiwala saako n’okubawa omukisa ekisesezza ababadde mu lukiiko.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com