• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Tukuletedde obunkenke mu ba Minisita nga balindirira enkyukakyuka, Museveni agenze Kisozi

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
1 year ago
in Luganda, National, News
21 1
Tukuletedde obunkenke mu ba Minisita nga balindirira enkyukakyuka, Museveni agenze Kisozi

Omukulembeze we Ggwanga Yoweri Kaguta Museveni, ne Ssabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba

Share on FacebookShare on Twitter

Ennaku zino ba Minisita bonna bali ku bunkenke nga balindirira ekigenda okuva ew’omukulembeze we ggwanga mu kiseera kino ali ku faamu ye e Kisozi mu Gomba.

Pulezidenti Museveni olunaku lw’okubiri yabiteekamu engatto nayolekera faamu ye e Kisozi, nga kigambibwa nti yagendayo awummulemu engeri gyali nti amaze ebbanga ddene nga atambula okwetoloola eggwanga lyonna.

Museveni yatandika okutambula eggwanga gye buvuddeko era nga yasookera mu mambuka era nakomekkerereza mu maserengeta, eno yali agenda asomesa enjiri eya bonna bagaggawale saako ne nnyingiza mu maka nga emu ku nkola zayagala okutandika okunyikiza mu bannaUganda mu kawefube we ow’okujja abantu mu bwavu gwaliko kati.

Hill Water

Mu kawefube ono era agenze asisinkana abakulembeze ku buli mutendera mu bitundu gyabaddenga agenda era nga eno ba kkansala okuva mu buli gombolola, ba kkansala ba zi Disitulikiti, ba Ssentebe ba magombolola gonna mu ggwanga n’aba NRM, obukiiko bwa NRM ku zi Disitulikiti, ba Ssentebe ba zi Disitulikiti zonna mu Uganda saako n’ababaka ba Palimenti babadde bamusisinkana era ne bamubuulira ebiluma abantu be bakulembera.

Bano babadde tebakoma kukumusisinkana kyokka wabula babadde basanga yabategekedde eby’assava saako n’ekebazza mu nsawo akategerekeka, era nga babadde bavaayo teri atoma yadde ab’oludda luvuganya Gavumenti.

Okusinziira ku bigambo ebibadde bimugambibwa abakulembeze olumu abadde alabika nga simusanyufu na bigenda mu maaso mu bitundu gyabaddenga  alambula, anti asanze pulogulaamu za Gavumenti nnyingi tezitambudde nga bwabadde asuubira okusinziira ku bigambo ebibadde bimugambibwa.

Enkola ya bonna bagaggawale gye yateekamu ensimbi empitirivu awamu abadde atuukayo nga tetambudde bulungi era eno abadde olumu akangula ku ddoboozi era n’atabukira be kikwatako.

Wabula bannaNRM gyabadde nga ayitira babadde bawanika ebipande ebimusuuta saako n’okumusaba akomewo yesiimbewo ku bwa Pulezidenti nga teri amuvuganyizza mu kibiina.

Kyokka nga ebyo byonna obitadde ku bbali bannaUganda babadde balinga abeerabira nti mu buli kisanja ekyemyaka 5 ekiweebwa bannaUganda Pulezidenti akyusizaamu ba minisita emirundi 2, nga kino kivudde ku kuba nti kuluno aluddewo okubakyusa, nga eggwanga lyetegekera okulonda okugenda okujja  mu 2021 ate nga n’olukungaana ttabamiruka w’ekibiina kya NRM alabika nga asembedde, buli Minisita ennaku zino atuula bufofofo olwebiyinza okuddirira, nti kubanga mu byafaaayo buli Pulezidenti Museveni bwamala okulambula eggwanga nagenda e Kisozi avaayo amaze okukyusa Kabinenti.

Ensonda zigamba nti Pulezidenti Museveni ke yayorekedde e Kisozi ajja kuvaayo nga amaze okulangirira Kabineti empya gyagenda okukola nayo mu bbanga elisigadde nga tanaddamu kunoonya kalulu, era nga kigambibwa nti kuluno bangi baakukyusibwa nabandi okugobwa.

Ssi ba Minisita bokka be bali ku bunkenke wabula ne kiri e Kyadondo ku ggwandisizo ekkulu ely’ekibiina ekiri mu buyinza nayo kika, eno nayo batuuza ya lukugunyu kubanga obukulembeze obuliyo ssawa yonna bukyusibwa okusinziira ku bubonero obuliwo.

Ebifo ebiteberezebwa okukwatibwako mulimu ekya Ssabawandiisi we kibiina, Omuwanika n’omumyukawe saako n’akakiiko ke by’okulonda.

 

 

 

 

 

 



Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Share4Tweet3Send
Previous Post

Bobi Wine, Joel Ssenyonyi attack ‘state spin masters’ over fake People Power apology

Next Post

Zari Hassan: I won’t stop having babies until I get 10 children

Next Post
zari Hassan

Zari Hassan: I won’t stop having babies until I get 10 children

Subscribe to Our Newsletter

Our news in your inbox. Subscribe to receive Watchdog Uganda news in your email at no cost.

Check your inbox or spam folder to confirm your subscription.

Facebook Twitter

Contact Information

Plot 23, Yusuf Lule Road
PO Box 7661 Kampala, Uganda
Office Line: +256 777 286 815
Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

© 2020 Watchdog Uganda

No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda

© 2020 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Create New Account!

Fill the forms below to register

All fields are required. Log In

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In