• Contact Us
  • About Us
  • Advertise
  • Donate
  • Login
Watchdog Uganda
Advertisement
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda
No Result
View All Result
Watchdog Uganda
No Result
View All Result

Enfa ya Pulofeesa Nsibambi yewunyisizza abakungubazi

Kizito Moses Buule by Kizito Moses Buule
2 years ago
in Luganda, National, News
15 1
Enfa ya Pulofeesa Nsibambi yewunyisizza abakungubazi

Omugenzi Prof. Apolo Robin Nsibambi

Share on FacebookShare on Twitter

OMUKENKUFU Apolo Nsibambi yafudde akawungeezi olunaku lw’okubiri ku ssaawa 11:00 ez’akawungeezi  mu makaage agasangibwa mu Zooni ya Bulange ku lw’e Sentema mu Munisipaali y’e Lubaga yewunyisizza abakungubazi.

Aba famire ye nga bakulembeddwaamu mukyala we Esther Nsibambi bategezezza nti baamubadde ku lusegere ng’afa era yafudde kimpoowooze, kubanaga baabadde tebakisuubira olwengeri gye yabadde alaga nti afunyemu ku maanyi.
Bagamba nti omugenzi aludde ng’atawaanyizibwa obulwadde bwa kookolo amutambuzza mu malwaliro ag’enjawulo omuli n’ageebweru.

Omu ku booluganda lw’omugenzi yategeezezza nti, Polof. Nsibambi baakedde nga bulijjo ne bagenda okumubuuzaako ng’ayogera bulungi ne bamuwa ku mubisi omusogole n’anywako era olwamaze n’abasaba bamugalamizeeko awummuleko era kye baakoze, oluvannyuma ne bamulekawo ne bagenda ku mirimu.

Wabula obudde bwe bwagenze nga bukaalaama, yatandise okugonda ennyo era Rev. Miwanda Njagala agamba nti nnamwandu yamukubidde mangu essimu nti omuntu amutabuseeko ajje balabe eky’okukola.

Kyokka waayiseewo akaseera katono nga nnamwandu amaze okukuba essimu, omuntu n’akutuka, era Rev. Miwanda yagenze okutuuka, nga Polof. Nsibambi afudde. Omulambo gwatwaliddwa mu Funeral Home e Mengo gye gugenda okukuumirwa okutuusa enteekateeka z’okuziika lwe zinaalangirirwa.

Hill Water

Polof. Nsibambi ng’oggyeeko okutawaanyizibwa kookolo, abadde atawaanyizibwa n’obulwadde bwa sukaali era mu bimu ku bizibu by’azze ayitamu, kwe kufiirwa mukyala we Rhoda gwe yasooka okuwasa.

Alese abaana bataano. Rev. Njagala yategeezezza nti buli lunaku wajja kubangawo okusaba mu maka g’omugenzi okutuusiza ddala lw’anaaziikibwa.



Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com

Share3Tweet2Send
Previous Post

Entebbe Mayor in critical condition after fatal accident on Express Highway

Next Post

Arab Billionaire and prospective Newcastle United owner to visit Uganda in July

Next Post
Sheikh bin Zayed al Nehayan:

Arab Billionaire and prospective Newcastle United owner to visit Uganda in July

Subscribe to Our Newsletter

Our news in your inbox. Subscribe to receive Watchdog Uganda news in your email at no cost.

Check your inbox or spam folder to confirm your subscription.

Facebook Twitter

Contact Information

Plot 23, Yusuf Lule Road
PO Box 7661 Kampala, Uganda
Office Line: +256 777 286 815
Email: editorial@watchdoguganda.com
To Advertise:Click here

© 2020 Watchdog Uganda

No Result
View All Result
  • Home
  • News
    • National
    • Politics
    • World News
  • Business
    • Agriculture
    • Finance
    • RealEstate
    • Technology
  • Op-Ed
  • Entertainment
    • Lifestyle
    • Showbiz
  • Sports
    • Football
    • Motorsport
  • Special Report
    • Education
    • People
  • Travel
  • Video
  • Luganda

© 2020 Watchdog Uganda

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Create New Account!

Fill the forms below to register

All fields are required. Log In

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In