AGAMBIBWA okuba omusawo w’ekinnansi mu Disitulikiti ye Kamuli Damiano Akuze kyadaaki apondoose ne yeetondera Omukubiriza w’olukiiko lwe ggwanga olukulu Rebecca Alitwala Kadaga ku nsonga z’omusango gwe yamuwawabira nga agamba nti yagaana okumusasula ensimbi ze baali bategeragana oluvanyuma lw’okumukolako mu ssabo lye.
Olwaleero mu bbaluwa gyawandikidde Sipiika era nga ewereddwako akulira abalamuzi e Jinja, Omuddumizi wa Poliisi ye Kamuli saako ne bannamawulire, Akuze alaze okwetonda okwekika ekyawaggulu kubanga atuuse n’okuyita Kadaga Maama, era namusaba yeekube mu mutima amausonyiwe.
“Nkizudde nti ebigambo byenzize nkwogerako bikukosezza nnyo nga omuntu ow’ekitiibwa mu ggwanga lyange, era ne bigezaako okwonoona emirimu emirungi gy’okoledde eggwanga lino saako n’ebweru waalyo, naye ate nga tebibadde bituufu nakatono, byange nze nabyeyiyiza awatali yadde kuyambibwako Puliida wanga Ivan Geoffrey Mangeni kale nsaba onsonyiwe” Akuze bwe yagambye mu bbaluwa gye yawandiise nga 7 ogw’okusatu.
Agamba nti kino akikoze watali kukakibwa kubanga ne looya we Mangeni abadde amusaba buli kadde ensonga azimalire wabweru wa kkooti kyokka nga takitwala nga ekikulu.
Yeyamye nti tagenda kuddamu kwogera kintu kyonna kyonoona linnya lya Sipiika era nagamba nti yejjusa byonna byeyayogera ku muntu atalina kye yamukola bwatyo neyegayirira Kadaga amusonyiwe.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com