Bya Moses Kizito Buule
MINISITA avunanyizibwa ku nsonga z’abavubuka n’abaana Florence Nakiwala Kiyingi avuddeyo nalabula Sheik Umar Kamoga omusomi we Dduwa, nti bwaba teyezeeko natandika okulabirira abaana baazaala mu bakyala ab’enjawulo agenda kumukwata amuggalire.
Kino kiddiridde abawala ab’enjawulo okuvaayo ne balumiriza Sheik Umar okubasenda senda n’abaganza era oluvanyuma n’abafunyisa embuto bwe baba bagenze ewuwe okubajjanjaba mu ngeri y’okubasomera edduwa, nga emu ku nkola gy’akozesa okuwonya obulwadde, kyokka bwamala ng’abagoba saako n’obutabawa buyambi ekyaviiriddeko n’omu okufirwa omwa ku ntandikwa ya wiiki eno.
Mariam Nakyanzi 19, ow’e Nansana ku Yesu Amala eyavuddeyo n’ategeeza nga Sheikh Umar bwe yamuzaalamu omwana n’amumusuliira era yasemba okumulabako ng’olubuto lwa myezi etaano.
Omuwala omulala Fatumah Najjuma, 20 ow’e Kawempe eyasoose oyafiiriddwa omwana n’asitula omulambo n’agutwala ewa Sheikh Umar e Nansana era Omwana yaziikiddwa mu limbo e Nansana ku Lwokubiri.
Nakyanzi yannyonnyodde nti Sheikh Umar yakoma okumuwa obuyambi ng’olubuto lwa myezi etaano okuva olwo teyaddamu kumanya bimufaako bwe yazaala omwana era Sheikh teyamuyamba ng’agamba nti ssente z’omwana tazirina.
Minisita Nakiwala yategeezezza nti kimenya mateeka omuntu okuzaala n’alagajjalira abaana mu bugenderevu, nti era omuntu nga oyo bwakwatibwa asibwa oba okusasula engassi okusinziira ku mateeka agafuga eggwanga lino.
“Mu nnaku ssatu ateekwa okuba ng’atandise okulabirira abaana. Bw’ataakikole ajja kukwatibwa. Ani amutuma okubazaala?” Nakiwala bwe yabuzizza.
Nakyanzi yannyonnyodde nti omwanawe aweza emyezi 10. Yamulemerera n’agenda ewa kkojjaawe e Nansana gy’abeera.
Agamba nti Sheikh Umar yamusanga ali mu luwummula lwa siniya eyokuna ng’atunda bizigo e Nansana nga eno Sheik Umaru gye yamulabira bwe baali bamusala enjala e Nansana okumpi n’akaduuka Nakyanzi mwe yali akola olwo Sheikh n’atuma omuvubuka eyali amusala enjala amufunire ennamba ya Nakyanzi, okuva olwo ne bakwatagana.
Sheikh Umar bwe yafuna ennamba, yatandika okumukubira n’okumusindikira ssente. Era omuwala n’akkiriza okumuganza.
“Yannimba nti ayagala mbeere mukaziwe nnamba bbiri era n’antegeeza nti ayagala muzaalire omwana owookubiri kubanga alina omu yekka ate muwala.
Bwe nafuna olubuto yandaga nti asanyuse nnyo. Era yampa ssente z’okundabirira, kyokka yakoma okundabirira ng’olubuto lwa myezi etaano”, Nakyanzi bwe yannyonnyodde.
Nakyanzi yagasseeko nti olubuto bwe lwakula, yava ku by’okusoma mu ttendekero lya YMCA gye yali yaakatandika.
Bwe yazaala, baamulongoosa n’ava mu ddwaaliro nga bakyamubanja 1,200,000/- n’okutuusa kati tazisasulanga.
Akaluubirirwa okulabirira omwana kubanga takola. Abeera asabiriza ne yeewuunya Umar obutafa ku zadde lye ate ng’alina obusobozi obukowoola abaagala obuyambi ku ttivvi era n’akubibwa ebifaananyi ng’abawa ssente.
Lwe nnasembayo okwogera ne Sheikh, omuwala yagambye nti “yankudaalira nti ssente alina za baagala kulya bulamu mu bivvulu. Talina za bazaala baana. Ekyaddirira butaddayo kukwata ssimu yange.
“Ensonga nnazitwala mu bazade ba Sheikh e Namusera abaamuyita n’asuubiza okumuwa obuyambi kyokka teyankombya wadde 100/-. Bampa amagezi okutwala ensonga ku poliisi e Nansana, kyokka bwe bamuyita talinnyayo”, bwe yategeezezza.
Maama wa Nakyanzi annyonnyola; Shirah Nakato Namwanje maama w’omuwala yannyonnyodde nti Umar yattira muwala we ebiseera bye eby’omu maaso bwe yamufunyisa olubuto nga wa myaka 17, kyokka n’amujolonga wadde nga baasalawo okuwa Sheikh Umar ekitiibwa kye.
“Bwe twamanya nti omwana ali lubuto twayita Sheikh ne tutuula ne tukkaanya alabirire omwana kyokka kye yakola n’amutwala n’amusuula mu kazigo e Wakiso. Teyamuwa mmere wadde obujjanjabi bwonna. Nnalaba omwana wange agenda kufa kwe kumutwala ewange. Bwe twatuukirira Sheikh yatutiisatiisa nti bwe tutegendereze omuwala ajja kufa”, bw’annyonnyola.
Agamba nti beekubira enduulu ku poliisi kyokka tebaayambibwa. Sheikh Umar bwe yatuukiridwa ku ssimu n’agamba tajja kwogera ku bintu ebyo. DPC w’e Nansana, Katwalo yategeezezza nti ensonga za Sheikh Umar zaabalemerera ne bazongerayo ku CPS .
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com