Bya Moses Kizito Buule
Abatuuze okuva mu magombolola ag’enjawulo mu disitulikiti y’e Buvuma basabye abakulembeze baabwe okubakolera enteekateeka ennung’amu ez’okubayambako okuva mu mbeera embi engeri gye kiri nti kati baafuna disitulikiti eyeetongodde ebasobozesa okwekolera ku bizibu byabwe
Bano baanokoddeyo ebizibu ebikyasinze okubatawaanya ennyo omuli enguudo embi sso nga ne ku bizinga ebimu tekuli nguudo abantu bayita mu bisinde bya nte, ebbula ly’amazzi amayonjo, ebizinga okutali yadde kaabuyonjo n’emu ng’abantu beeyambira mu nsiko, abakozi ba gavumenti be bagamba abatabeera mu woofiisi ng’e Buvuma babeerayo nnaku 3 mu wiiki n’ebirala nga bino baagala bikolebweko.
Matia Nickson Ocheng, ssentebe w’eggombolola y’e Nairambi yategeezezza nti abantu mu ggombolola lye bali bubi nga tebalina mazzi mayonjo gaakunywa nga banywa gaamunnyanja nga n’oluusi balemererwa okugafumba.
Ocheng yagambye nti embeera eno eviiriddeko ebirwadde bingi ebiva ku bukyafu okwegiriisiza mu batuuze be omuli ebiddukano eby’omusaayi, Typhoid oba omusujja gw’omubyenda, Bilihaziya n’ebirwadde ebirala bingi.
Ono era yategeezezza nti n’emyalo egy’enjawulo tekuli wadde zi kaabuyonjo ng’abantu beeymbira mu nsiko olwo ate enkuba bw’etonnya obubi ne bukulukuta okuggwera mu nnaynja ate gye basena amazzi ge banywa.
“Tusaba nga disitulikiti eteekateeka embalirira y’omwaka ogujja 2019-20120, efube okuteekamu ensimbi ez’okuzimba zi kaabuyonjo kuba olw’enkula y’ebizinga omuli okuba n’enjazi ssaako ate mu bitundu ebimu nga birimu musenyu nga n’amazzi gali kungulu nnyo abantu baabulijjo tebasobola kwezimbira kaabuyonjo zaabwe nga bassekinnoomu,” Ocheng bwe yagambye.
Ye omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Buvuma, Mbuubi Patrick Nsubuga Kirumbalumba yalaze okunyolwa olw’enguudo ezisusse okubeera mu mbeera embi ekiviiriddeko abantu okukaluubirirwa mu ntambula okuli n’abasuubuzi abatasobola kutambuza byamaguzi byabwe naddala mu biseera by’enkuba.
Mbuubi yasabye abakulembeze ba disitulikiti okuteekawo ensimbi mu mbalirira ez’okubayambanga okuddaabirizanga amakubo mu biseera nga gonoonese nnyo akageri gye kiri nti gavumenti yabawa ebyuma ebikola ku nguudo.
Bino byatuukiddwako mu lukiiko olwayitiddwa disitulikiti okufuna endowooza z’abantu ku biki bye baagala okuteeka mu mbalirira y’omwaka ogujja. Abakozi ba gavumenti baaweereddwa omukisa okunnyonnyola ebyo bye basobodde okukolako mu mwaka gw’eby’ensimbi guno ne bye basuubira okulola mu kiseera eky’omumaaso.
Ye ssentebe wa disitulikti, Alex Mabiriizi yalabudde abakozi ba gavumenti okukomya okwebulankanya ku mirimu n’agamba nti abawulira nga tebakyagala kukola bategeeze be kikwatako basiibulwe mu butongole ebifo byabwe bisobole okujjuzibwamu abantu abalala mu kifo ky’okuba ng’ensimbi za gavumenyti z’ebasasula mu musaala balya zabwereere tebaagala kukola.
Do you have a story in your community or an opinion to share with us: Email us at editorial@watchdoguganda.com